Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Poliisi mu Kampala ekutte omukazi agambibwa okusalako bba obusajja namutta nga amuvunaana okubaamu obwenzi.
Omukwate ye Joy Bira, nga abadde mukyala wa Benson Baluku, abatuuze ba Nabisaalu Waswa zzooni mu Makindye divizoni.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga bano bafunye obutakkanya ku Ssande nebatandika okuyomba ku ssaawa 4 ez’okumakya era wano Bira yakutte akambe nasalako Baluku obusajja.
Kigambibwa nti Baluku yavuddemu omusaayi mungi ekyamuleetedde okufa nga addusibwa mu ddwaliro e Mulago okutaasa obulamu bwe.
Abatuuze beekyaaye nebaagala okwekolera ku Bira wabula Poliisi neyingirawo mu bwangu okusobola okumutaasa.
Okusinziira ku Enanga omukyala ono akuumirwa mu kaduukulu kabwe wano mu Kampala era agenda okuvunaanibwa emisango egiwerako omuli n’ogw’obutemu.
Enanga yasinzidde wano navumirira ebikolwa nga bino n’obutabanguko mu maka nasaba abantu okunoonya engeri endala gyebasobola okugonjoolamu obutakkanya so si kutting’ana.