
Bya Musasi Waffe
Kampala
Omukago ogugatta amawanga mu Bulaaya ogwa ‘European Union (EU) gulabudde gavumenti ku bikolwa by’okuvvoola eddembe ly’obuntu ebyeyongera buli lunaku nga bwe bigenda okugizaalira ebizibu.
Bano bafulumizzaawo ekiwandiiko enkya ya leero nga February 7, 2022, bategeezezza nti kitutte omwaka mulamba ng’ebikolwa ebirinnyirira eddembe ly’obuntu byeyongera bweyongezi omuli; okutulugunya, okubuzaawo abantu, okukwata abalwanirizi b’eddembe, ababaka n’abalwanirira obudde, ekyongedde okusiiga gavumenti ekifaananyi ekibi.
“ Ab’ebyokwertinda okumala gakwata abantu ne babasibira mu bifo ebitali mu mateeka, okubasiba ebbanga eddene awatali kusimbibwa mu kkooti, okubatulugunya awamu n’okulinnyirira eddembe ly’ababaka ba Palamenti.” Bye bimu ku binokoddwayo omukago guno.
Bano beegasse ku Amerika ebadde yaakamala okuvumirira ebityoboola eddembe ly’obuntu n’esaba gavumenti okukuuma eddembe lya bannansi.
Kinajjukirwa nti Ssabbiiti ewedde emitimbagano gy’abuna ebifaananyi by’abantu abatulugunyizddwa nga mu bano mulimu omuwandiisi w’obutabo, Kakwenza Rukirabashaija eyasibwa okumala omwezi mulamba kubigambibwa nti yavvoola Pulezidenti Museveni ne mutabani we, Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba.
Oluvannyuma lw’okuyimbulwa, Kakwenza yanyumya ebyamutuusibwako nga ali mu kkomera.
Omulala ye mukwanaganya w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) e Kasese, Samuel Masereka naye yavaayo n’alumiriza ab’ebyokwerinda olw’okumutulugunya ne bamuteekako ebiwundu ebyamaanyi.
Bulaaya esabye gavumenti ya Uganda okukola okunoonyereza ku bikolwa bino ebigenda mu maaso awamu nebyo ebyaliwo wakati wa Novemba 18 ne 19, 2020 ebyaleka ng’abantu abawerako bafudde.









