Bya Ssemakula John
Palamenti y’omukago gwa Bulaaya (European Union) erabudde okusala ku buyambi bw’ewa Uganda singa Uganda eyongera okulinnyirira eddembe ly’obuntu wamu n’enfuga ey’amateeka ne demokulasiya.
Palamenti eno era erabudde okuteeka natti ku banene abatyoboola eddembe ly’obuntu awamu n’ebitongole ebyenyigira mu bikolwa bino.

Bino bye bimu ku byasaliddwawo ababaka mu palamenti eno, eggulo ku Lwokuna. Bano baasabye amawanga agali mu mukago guno okukozesa obuyambi bwe gawa Uganda okukkirizisa gavumenti okukyusaamu era ave ku bikolwa ebityoboola bannansi.
Okusinziira ku mukago guno, envumbo ezigenda okuteekebwa ku banene abatyoboola eddembe ly’obuntu za kwesigamizibwa ku tteeka lya ‘ EU Magnitsky Act’.
Ababaka bano era bafulumizza olukalala lw’ebikolwa bye bagamba nti byatyoboola eddembe ly’obuntu mu kalulu akawedde, ke bagamba nti tekaali ka bwenkanya wadde amazima.
Bagamba nti mu kaseera k’okulonda ebitongole, by’ebyokwerinda byakozesa amaanyi agasukkiridde ku ludda oluvuganya era kino kiwa ekifaananyi ekikyamu ku nkolagana y’Omukago guno ne Uganda.
Bano bategeezezza nti wadde beetegefu okusigala nga bakolagana ne gavumenti ya Uganda okutumbula demokulaasiya n’okukola ennongoosereza mu nfuga ey’amateeka, naye enkolagana eno yeesigamye ku kwewaayo kwa Uganda okulaba nti eteeka mu nkola ennongoosereza zino.
Kitegeerekese nti ekiwandiiko ekitongole ekyayisiddwa Palamenti, eno kyaweerezeddwako Pulezidenti Museveni, Sipiika wa Palamenti ya Uganda awamu ne African Union.
Omukago gwalaze okunyolwa olwa abatunuulizi b’ebyokulonda abali ku mutendera gw’ensi yonna okugaanibwa okulondoola akalulu ate mu kalulu ke kamu bannamawulire awamu n’ebibiina by’obwannakyewa, ne bitiisitiisibwa ebitagambika.
Kinajjukirwa nti Pulezidenti Museveni azze avaayo mu lujjudde n’avumirira amawanga g’ebweru ku ky’agamba nti bano babadde bakolagana n’oludda oluvuganya okutabangula emirembe gya bannayuganda. Omukago guno gusabye gavumenti okuyimbula abantu bonna abazze bakwatibwa okuva ku ludda oluvuganya, awatali kakwakkulizo konna kuba bano tebalina musango gwe baakola okuggyako okweyagalira mu ddembe lyabwe eribaweebwa ssemateeka.