Bya Ssemakula John
Buluuli
Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala asabye gavumenti okwongera amaanyi mukubangula abantu ku bwetaavu bw’okugaba omusaayi okusobola okumalirawo ddala ebbula lyagwo.
Okusaba kuno Omuk. Ndagala akukoledde mu ggombolola ye Lwabyata ne Mutuba III Lwampanga mu ssaza lye Buluuli bw’abadde mu nteekateeka y’okugaba omusaayi.
Omuk. Ndagala agamba nti singa bannansi bamanya ebirungi ebiri mu kugaba omusaayi era nebakimanya nti guno tegulina kkolero tewali nsonga eyinza kulemesa bantu kuguwaayo kuba buli omu asobola okubaako wagwetaagira.
Ono asabye abantu ba Kabaka okwongera okujjumbira enteekateeka eno basobole okuyambako abali mu bwetaavu bw’omusaayi naddala abakyala abazaala awamu n’abantu ababeera bagudde ku bubenje.
Omwami wa Kabaka atwala egombolola ya Ssabagabo Lwabyata, Tebajjukira Ibrahim asabye abantu okujjumbira enteekateeka y’okugaba omusaayi era neyeyanza nnyo Ssabasajja Kabaka olwenteekateeka eno n’ okutumbula embeera z’abantu be.
Enteekateeka eno ewagirwa aba Uganda Blood Transfusion Services, Nakasero Blood Bank ne Red Cross nga ekomekerezebwa ku Lwakutaano luno mukitundu kino.