Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Ssentebe w’olukiiko lw’abavubuka mu Buganda olwa Buganda Youth Council, Omuk. Baker Ssejjengo akunze abavubuka okuteeka ekiragiro kya Kabaka mu nkola eky’okubeera abasaale mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.
Ono agambye nti wadde ng’abavubuka basanyuka nnyo olwa Ssaabasajja okubakwasa omulembe gwe n’abasosoowaza ne mu kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya ng’abeetoololezaako omulamwa, singa abavubuka tebeenyigiramu mulimu gwabaweebwa, Omutanda ajja kuba nga yamenyekera bwereere.
Bino Omuk. Ssejjengo abyogeredde mu Masengere nga alambulula ku nteekateeka z’amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 66.
“Nsaba abavubuka bonna mu Buganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu era n’abantu bonna okuba abasaale mu kulwanyisa Mukenenya kubanga ffenna kitukakatako.” Omuk. Ssejjengo bwe yategeezezza.
Omuk. Ssejjengo era yakikkaatirizza nti singa abantu bajjumbira ekola z’okulwanyisa Mukenenya essatu omuli; okuba abeesimbu eri abaagalwa baabwe, okwekuuma naddala abo abatannaba kwetuuka wamu n’okukozesa obupiira, okufuna abalwadde ba Mukenenya abapya okusukka omwaka gwa 2030 kisobola okufuuka olufumo ng’ekigendererwa ky’ekitongole ky’ensi yonna bwekiri.
Omuk. Baker Ssejjengo nga y’omu ku batuula ku kakiiko akategeka amazaalibwa ga Nnamunswa ag’omulundi guno, akubirizza abantu okwenyigira mu bikujjuko by’amazaalibwa ga Kabaka ebyakulemberwamu okusabira Ccuucu mu masinzizo ag’enjawulo. Ku Lwomukaaga luno wagenda kubaawo okusaba mu Abadiventi wamu n’ebyoto mu masaza gonna okwetoloola Buganda. Okusinziira Ku mukungu Ssejjengo, ebyoto by’omulundi guno bigenda kukolebwa misana wakati w’essaawa 8 ne 12 okusobola okukuuma ekiragiro kya kafyu ekyateekebwawo omukulembeze w’eggwanga.
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi yasiima okubeera emmunyeenye y’ekitongole ky’amawanga amagatte mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya mu Africa era omulamwa gw’amazaalibwa ge ag’omulundi guno ogw’enkaaga mu omukaaga gugamba nti, “Abavubula tube basaale mu kulwanyisa Mukenenya.”









