Bya Ssemakula John
Goma
Omubaka wa Yitale mu Democratic Republic of the Congo, Luca Attanasio 44, n’abantu abalala 2 battiddwa enkya ya leero mu bulumbaganyi obukoleddwa ku luseregedde lw’emmotoka z’amawanga amagatte ezibadde zitambula.

Obutemu bubaddewo ku ssaawa nga nnya ez’okumakya abatamanyang’amba bwe babadde bagezaako okumuwamba mu kabuga k’e Kanyamahoro, kkiromita ntono nnyo okuva ku kibuga Goma mu Virunga National Park.
Luca attiddwa n’omusirikale wa Military Vittorio Iacovazzi 30, abadde amukuuma wamu ne ddereeva waabwe.
Kigambibwa nti abakuumi b’ebisolo mukuumiro lya Virunga banguye okugezaako okutaasa obulamu bwa Attanansio wabula ne kitasoboka era gavumenti ya Congo efulumizzaawo ekiwandiiko eky’enjawulo ku bulumbaganyi buno.