
Amyuka akulira palamenti ya Bolivia ey’okuntikko [Senate] Jeanine Anez yerangiridde nti kati ye mukulembeze wa Bolivia omuggya, oluvanyuma lw’okulekulira kwa pulezidneti Evo Morales, omumyukawe Alvaro Garcia Linera, awamu n’akulira palamenti eyawaggulu [Senate] Adriana Salvatierra. Okusinziira ku ssemateeka wa Bolivia, omumyuka wa pulezidenti yateekeddwa okumuddira mu bigere, bwaba taliwo, omukubiriza wa palamenti yaddako. Kyokka banno bombi essawa eno tebaliyo oluvanyuma lw’okusindikirizibwa abeekalakaasi. Abekibiina kya Morales bagezezaako okulemesa Anez, ng’ono abadde kuludda oluvuganya gavumenti okutwala obukulembeze, oluvanyuma lw’okugaana okulabikako mu palamenti okusalawo nga bakuba akalulu. Morales wetwogerera bino nga mutaka mu ggwanga lya Mexico gyeyaweereddwa obubudamu olw’okutya okutuusibwako obulabe. Okwekalakaasa okutasalako kwawaliriza Morales okulekulira. Ono abadde amaze ku bwa pulezidenti emyaka 14. Ekyatanula okwekalakaasa mu Bolivia, ke kalulu akaakubwa ssabbiiti nga ssatu emabega akawangulwa Morales wabula nga ab’oludda oluvuganya bagamba ono yabba kabbe. Ebimu kubitongole ebyakuuma akalulu kano byategeeza nti bwebyatunuulira ebyava mu kalulu, byakizuula nti waliwo okukyusibwakyusibwa okwamanyi mubyava mu kulonda nebigamba nti mumbeera eyo, kizibu okumanya ani yawangula akalulu mubutuufu wakati wa Morales ne Carlos Mesa eyamuvuganya.