John Baptist Nambeshe, omubaka wa palamenti akiikirira essaza ly’e Manjiya mu disitulikiti y’e Bududa alangiridde nti agenda kwesimbawo bwannamunigina mu kulonda kwa 2021.
Ono nga yaakulira ekisinde kya People Power mu Buvaanjuba bwa Uganda agambye nti tagenda kwesimbawo mu kamyufu ka NRM kubanga talina bwesige mu bakulira akakiiko akalondesa mu kitundu kino.
Ono yagambye tebalina kyebafunye mu NRM mu myaka 35 gyebamaze nga bagiwagira naategeeza nti ekibiina kino kiringa kampuni ey’obwannanyini.
Nambeshe y’omu ku babaka abaawakanya okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga mu 2017 wamu n’okuwakanya Pulezidenti Museveni okwesimbawo nga tavuganyiziddwa mu NRM.
Akalira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM e Bududa, Stephen Wakyaya,yategeezezza nti Nambeshe waddembe okwesimbawo nga talina kibiina kubanga Uganda erimu dimokolaasiya amukkiriza okukola nga bwayagala.
Ono yagasseeko nti Nambeshe abadde abatamye okuwakanyanga buli kusalawo kwa kibiina nga n’olwekyo okugendakwe tekubalumyemu wadde naakatono.
URN