Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka wa Bukoto South mu Palamenti, Dr Twaha Kagabo enkya ya leero alabiddwako n’ensawo egambibwa okubaamu obukadde bwa silingi 40 nga azizzaayo okugondera ekiragiro kya Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Kigambibwa nti obukadde 40 zezaweebwa buli mubaka nga akasiimo olw’okuyisa embalirira y’enyogereza ey’obuwumbi 618 nga kuzino kwali obuwumbi 77 ezagenda mu maka g’Obwapulezidenti mu June w’omwaka guno.
Ensimbi zino zayisibwa ebula olunaku lumu lwokka eggwanga lisomerwe embalirira y’omwaka 2022/2023 abasinga kyebakubamu ebituli.
Oluvannyuma lwa kino, Akulira NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yawa ababaka b’ekibiina kye essaawa 48 nga ssente zino bazizizzaayo nga agamba nti zaali zakibi wabula tewali yaziwaayo.
Enkya ya leero Kagabo ayingidde woofiisi y’ akulira oludda oluwabula gavumenti n’ebisawo bya ssente zino era nakakasa nti yekubye mu mutima nalaba nga ssente zino zigwaanye okuzibwaayo.
Ono Mpuuga amubuuzizza gyeyaziggya era nategeeza nti yazinona mu maka ga Sipiika Anita Among.
Wano Owek. Mpuuga amuwadde abamu ku bakuumi be bamuwerekereko okuzizzaayo mu maka ga Sipiika gyagamba nti gyeyazifuna.
Owek. Mpuugha atendereza Dr Kagabo olw’obuvumu nasaba ababaka abalala okumulabirako.
Kinajjukirwa nti Palamenti yesamba ebintu by’ensimbi zino era eriko ekiwandiiko kyeyafulumya nga June 15th okwali omukono gwa Chris Obore nga agamba nti byonna byali bigendereddwamu okwonoona erinnya lya Sipiika Anita Among.