Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ejulirwamu ekatemyemudde bwetegeezezza nti Joyce Bagala ye mubaka omulonde owa disitulikiti ye Mityana bwesazizaamu okusalawo kwa kkooti enkulu eyagumusingisa omusango ogwamuwaabirwa Judith Nabakooba nga agamba nti yagulirira abalonzi.
Mu nsala ya kkooti eno, abalamuzi basatu Geoffrey Kiryabwire, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake bakaanyiza ne Bagala n’akakiiko k’ebyokulonda nti kkooti enkulu ensala yaayo yali mu bukyamu okusazaamu akalulu kano nelagira akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda okuggya.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire oluvannyuma lw’okuwangula omusango guno, Bagala ategeezezza nti olugendo luno terubadde lwangu.
“ Mbadde nga mbagamba nti twawangula akalulu kano. Bwetwawangula omuntu omu yagenda mu kkooti nebatuyita era tuzze netuddamu netumuwangula. Kati ssaawa yakukolera Bannamityana,” Bagala bw’agambye.
Bagala yeebazizza ekibiina ki National Unity Platform (NUP), bannamateeka be awamu n’abantu abayimiridde naye.
Kkooti enkulu e Mubende yali yasingisa Bagala omusango ogw’okugulirira abalonzi awamu n’abamu ku bantu be okulonda emirundi mu kalulu akakubwa nga January 14 ekikontana n’amateeka g’okulonda era bwatyo nalagira wabeewo okulonda okuggya.