Musasi waffe
Olutalo olw’okulwanirira ebiyiiriro bya Murchison ebisangibwa kumugga gwa Kiyiira mu disitulikiti ya Nwoya obutazimbwako bbibiro ly’amasanyalaze luzzeemu. Oluvanyuma lw’akabanga nga abaali beesomye okutwala ebiyiriro bino basirikiridde, minisita avunanyizibwa ku bulambuzi, Godfrey Kiwanda SSuubi ng’ayogerera mu lukiiko olwategekeddwa ekitongole ekivunanyizibwa kunsolo z’omunsiko ekya Uganda Wildlife Authority yategeezezza nti olukiiko lwa baminisita lwasalawo nti wabeewo okunonyeraza balabe oba nga okuzimba ebbibiro ly’amasanyalaze ku biyiiriro bino kyekisinga eby’obulambuzi. “Ffe ng’aba minisitule y’ebyobulambuzi twali tugamba nti tekisoboka kuzimba bbibiro lino ku biyiiriro bino, naye kabineeti yakirizza nti wabeewo alipoota ekolebwa okuzuula kiki ekisinga, kino kijja n’akutuyamba mumaaso eyo n’abandyagadde okukola kyekimu babe nga baziyizibwa kubanga waliwo ekiwandiiko ekikyogerako,” Kiwanda bweyategeezezza. Ekitongole ekivunanyizibwa kukulungamya ebyamasanyalaze ekya Uganda Electricity Regulatory Authority, kuntandikwa y’omwaka guno kyali kikirizza kampuni y’amasanyalaze eva e South Africa okuzimba ebbibiro ku biyiiriro bino, ebyogerwako nti byebisinga obunene mu Africa, obolyawo n’ensi yonna. Wabula kino kyewakanyizibwa abantu ab’enjawulo nga bagamba nti kyali kigenda kutta eby’obulambuzi mu kkumiro ly’ebisoo era Murchison, kubanga abantu abasinga okulikyalira baba baagala kulaba biyiiriro bino. “Olutalo mukulwanirira obutonde teruliggwa kubanga abantu bangi batunuulira ebintu byetulina mugalubindi ez’enjawulo. Omuntu atunuulira amazzi ag’efukula nga ye alabamu masanyalaze ate nga nze ndabamu balambuzi kino kitegeeza nti nga ze ali mu buttonde bw’ensi nina okuteeka ekigere kuttaka okukiremesa,” Kiwanda bweyategeezezza.