
Bya Gerald Mulindwa
Ssingo
Olusiisira olukulungudde enzingu bbiri nnambirira kiwedde era nga luwadde obujjanjabi obwa buli kika omuli; okwekebeza, endwadde z’Amaaso, kookolo wa Akatungulu, endwadde z’Abakyala n’endala, era nga abantu abakunuukiriza emitalo ena (40k) be bajjanjabiddwa.
Bw’abadde aggalawo olusiisira luno, Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki asabye gavumenti eteeke eddagala mu malwaliro era akakase nti n’abasawo babeereyo, ebeere enkola egenderere okutumbula ebyobulamu mu bantu naddala mu byalo.

Ategeezezza nti Kabaka bwajjanjjaba abantu be, n’atumbula ebitone by’abavubuka, n’alwanyisa endwadde nga Mukenenya, n’abakulaakulanya nga ayita mu nkola ya mmwanyi terimba, n’asomesa abaana mu Kabaka education fund, kino kyoleka nti Kabaka ayagala nnyo abantube.
Omwami we Ssaza Ssingo, Oweek Mukwenda Deogratious Kagimu, kulwa banna Ssingo yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka ya Tubeere balamu bwatyo n’akubira Gavumenti omulanga okutuusa eddagala n’obujjanjjabi mu byalo n’abantu abali eryo baleme kutambula ngendo mpanvu nga banoonya obujjanjabi.

Akubirizza abajjanjjabiddwa okugenda mu malwaliro bafune eddagala eribalambikiddwa abasawo.
Olusiisira oluddako lwa nga 6-7 May e Kyaddondo.