Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Bulange
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abazadde okuyisa abaana baabwe eky’enkanyi awatali kusosola abo abaliko obulemu.
Obubaka buno abutisse Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Ahmed Lwasa Obwakabaka bwe bubadde bukuza olunaku lw’abantu abaliko obulemu mu Buganda wansi w’omulamwa “Ffenna tuvunanyizibwa ku nsonga z’abaliko obulemu”.

Katikkiro asabye abazadde okufaayo ennyo ku baana abasoma awamu n’okutuusaako obujjanjabi nga bayisa abaana kyenkanyi awatali kusosola, babakirize; okwenyigira mu kulimira awafunda, eby’emizannyo, ebyobufuzi nga bino byonna bibawa amaanyi okwetaba mu kwetuusako enkulaakulana.Katikkiro
Katikkiro agamba nti Obwakabaka bulondoola abantu abaliko obulemu nga buyita mu bukulembeze bwabwo paka ne mu masaza era waliwo obujjumbize bw’amanyi okuva enteekateeka eno lweyatandika bw’atyo abasabye okwongera okwettanira enkulakulaana nga okulima emmwanyi, okusoma ebibatuusibwako okuva mu nteekateeka za gavumenti eya wakati.
Kamalabyonna abakubirizza okufuna omutemwa gwabwe ogwaweebwayo gavumenti ku ggombolola ze bavaamu era bafeeyo okutuukirira abo abakwatibwako ensonga eno.
Minisita w’Ekikula ky’Abantu Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo agamba nti buli muntu akwatibwako ensonga y’abantu abaliko obulemu era kisaanidde okubakolera byebetaaga. Wano wasinzidde n’asaba abazadde okukuuma abaana abaliko obulemu naddala abaana abawala.Minisita

Minisita asabye gavumenti okussa mu nkola amateeka agayambako abaliko obulemu okukozesa ebizimbe ebiri mu kibuga nabo bafune omwaganya mu kibuga.Kamisona
Kamisona Mw. Muhumuza Prosper ku lwa Minisita wa Gavumenti eya wakati, Hon. Hellen Asabo yebazizza Obwakabaka olw’okukulemberamu omulimu gw’okugemesa abantu ba Kabaka okubasobozesa okuwona okufuna obulemu.
Aba Mukisa Foundation bawaddeyo obugaali kkumi okuyambako abalina obulemu okutuuka mu bifo byonna mu budde.
Omukolo guno gwetabiddwako ba Minisita ba Kabaka; Oweek. Ahmed Lwasa, Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, Oweek. Hajj Amisi Kakomo, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Omukwanaganya w’Emirimu mu ssaza Kkooki Oweek. Gertrude Ssebuggwawo, Ssentebe wa Bboodi y’Ekikula ky’Abantu Muky. Nakazzi Fatuma Kakande, Ssentebe w’Olukiiko olutegesi Eng. Sulaiman Mayanja, Ssentebe wa Buganda Disability Council Mw. Busuulwa Asuman, bannabyabufuzi n’abantu abalala.









