Bya Gerald Mulindwa
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki ategeezezza nti okukozesa ekitone okutuusa obubaka eri abantu kya nkizo nnyo era bye bimu ku byafuula omugave Ndugwa ow’ettutumu bweyayolesa obukugu mu kuzannya katemba n’okuyimba naasomesa eggwanga, era naakwata neku balala.
Obubaka buno abuwadde yeetabye ku mukolo gw’ okwabya olumbe lw’ Omugave Ndugwa era naasaba abalala okumuyigirako.
Owek. Kawuki ategeezezza nti Omugave Ndugwa yakwata ku bulamu bw’ abalala era ensigo gyeyasinga ekyatinta mu bannabitone nga; Omumbejja Mariam Ndagire, Abby Mukiibi, Annet Nandujja n’abalala.
Mu buweereza bwe eri Kabaka, yebazizza nnyo omugenzi olw’okutegekeranga omuntu yenna eyavanga e Bulange n’akyalako mu America mu nnyaniriza, eby’ensula, n’endabirira ey’enjawulo.
Wano waasinzidde n’asaba omusika era mutabani w’ omugenzi, Mark Semakula okutambulira mu buufu obwo.
Mu buweereza eri Kabaka, yebazizza nnyo omugenzi olw’okutegekeranga omuntu yenna eyavanga e Bulange n’akyalako mu America mu nnyaniriza, eby’ensula, n’endabirira ey’enjawulo. Kuno kwasinzidde n’asaba omusika okutambulira mu buufu obwo.
Omukolo gwatandise n ekitambiro ky’emmisa ekiyimbiddwa Rev. Fr. Vincent Kasirye, alungamizza omusika ne Lubuga we obukulu bw’effumu, ekifundikwa, endeku wamu n’obuvunaanyibwa bw’omusika.
Omusika, Mark Ssemakula yeeyamye okutambula wamu ne baganda be, mu kuwabulwa n’okulungamizibwa mu buvunaanyizibwa bw’akwasiddwa.
Omugenzi asikiziddwa mutabani we Mark Semakula ne Lubuga Shamim Nakitende.