Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo

Olukiiko lwa Buganda olutudde nga 16/06/2025 luyisizza ebiteeso bina (4) omuli n’okusiima embeera Ssaabasajja Kabaka mwali.
Mu lukiiko omubadde okusoma embalirira y’Obwakabaka bwa Buganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga asoose kubuulira bakiise ebyo ebigenda mu maaso mu Bwakabaka nga wano wayogeredde ne ku lugendo lwa Nnyinimu ebweru w’Eggwanga.
“Ng’ennaku z’omwezi 5 omwezi guno, Ssaabasajja Kabaka yasitula n’agenda ebweru w’Eggwanga okusisinkana abasawo ab’ebweru basobole okutambulira wamu n’abasawo be abaakuno. Omuteregga muwuliza era ensonga zitambula bulungi, alamula Obuganda, ajja kudda ku butaka ng’okumwekekebejja kwonna kuwedde” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro era ajjukiza Obuganda amatikkira ga Kabaka Mutebi II ag’omulundi ogwa 32 agajja okujaguzibwa nga 31/07/2025. Ategeezezza nti wajja kubaawo okusabira Omutanda mu muzikiti e Kibuli mu kujjukira olunaku luno era Ssentebe w’enteekateeka zonna ye Owek. Hajj Ahmed Lwasa Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko ng’ono amyukibwa Minisita Israel Kazibwe Kitooke n’abakiise abalala abalondeddwa ku lukiiko olutegesi.

Katikkiro ayogedde ku birala ebibaddewo omuli olukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention gye yagenda ne Baminisita abamu okusisinkana abantu ba Kabaka, ayogedde ku kutongoza omwaka gwa Mmwanyi terimba 2025-2026, era agumiza abalimi b’emmwanyi ku bbeeyi y’emmwanyi, kuno agasseko n’okugenda lwe e Butambala gye yalambudde abaana abali mu masomero, ayanjudde abakungu abali ku lukiiko lwa kkooti ya kisekwa, abikidde olukiiko abantu ab’enjawulo abafudde mu biseera ebiyise.
Katikkiro ng’akomekkerezza okwogera kwe, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ayanirizza Omuwanika wa Buganda okwanjulira Obuganda embalirira y’Omwaka 2025/2026 nga kino ky’ekibadde ekinyusi ky’olukiiko.
Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayanjulidde Olukiiko n’Obuganda bwonna embalirira y’Omwaka 2025/2026 ya buwumbi 305 ng’eno eri ku mulamwa; “okusembeza omuvubuka mu kuteekateeka n’okussa mu nkola pulogulaamu z’Obwakabaka okuziganyulirwamu awamu” Eno yakusoosowaza abavubuka, ebyobulimi, obweggassi, eby’ensoma mu baana abato, tekinologiya, okusiga ensimbi n’enkulaakulana n’ebirala.
Olukiiko oluvannyuma lw’okuwulira okwogera kwa Katikkiro n’embalirira luyisizza ebiteeso 4, bye bino wammanga;

1. Olukiiko lusanyuse nnyo okumanya nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi lI gye yagenda okulaba abasawo be, ensonga zigenda bulungi, era alammula Obuganda; era Olukiiko lusanyuse okumanya nti Omutanda ajja kudda ku butaka, mangu ddala ng’abasawo bamalirizza ogwabwe.
2. Olukiiko lusanyukidde enteekateeka y’okulambula abantu ba Kabaka ababeera wabweru wa Buganda, ekibayamba okwongera okugoberera enteekateeka z’Obwakabaka, okuziwagira ate n’okukuuma emirandira gyabwe n’Obutaka bwabwe.
3. Olukiiko Iusanyuse okuweebwa entebya y’emirimu egikoleddwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2024/2025, nga byesigamizibwa ku mirimu egyalambikibwa mu mbalirira eyo
4. Olukiiko luyisizza embalirira y’Ebyensimbi ey’Obwakabaka ey’Omwaka 2025/2026 ya Shs 304,914,219,389/=.