Bya Ssemakula John
Kyaddondo
Olukiiko olutegesi olw’ empaka z’ekikopo ky’ Amasaza eky’omwaka 2024 ka ‘Masaza Committee’ kalambudde ebisaawe nekakasa ebyo ebituukanye n’omutindo okuzannyibwamu emipiira gino.
Mu bisaawe ebirambuddwa, e Buvuma, e kisaawe kya Magyo kyekirambuddwa, Bugerere yakukozesa Ntenjeru , so nga mu ssaza Kyaggwe Lugazi- Najjembe ne Bishop Ss Mukono byebirambuddwa, ate e Buluuli ekisaawe kye Kakooge kyekirambuddwa.
E Bulemeezi ekisaawe kye Kasana kyekirambuddwa, Buwekula ekya Mubende PTC ate Buddu sports Arena e Kitovu yeyalambuddwa.
Mu birala, e Ssese ekisaawe kye Lutoboka kye kigenda okukozesebwa, Butambala ekisaawe kya Kibibi Secondary kyekirambuddwa, Gomba yakukozesa Kabulasoke PTC yerambuddwa, so nga Mawogola yakukozessa kisaawe kya Mawogola Ssaza Grounds e Sembabule.
Mu ssaza Mawokota, ekisaawe kye Buwama kyekirambuddwa , Kyadondo yakuzannyira ku Homsidallen, Busiro ezannyire e Sentema, Ssingo ekozese Mityana Ssaza Ground ate Busujju ebeere ku Kakindu Parish.
Kkooki ebisaawe bibiri byegenda okukozesa nga kuno kuliko ekya Rakai PTC ne St. James – Kyotera, so nga essaza Kabula yakukozesa ekisaawe kye Lyantonde.
Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka zino Sulaiman Ssejjengo asabye Abaami b’Amasaza n’obukiiko obuddukanya emipiira ku masaza batereeze obutonotono obubalagiddwa ng’empaka zino tezinatandika.
Empaka za Masaza ga Buganda zitandika, nga 22nd June 2024.