Tubakulisa nnyo okutuuka ku Ttabamiruka wabakyala owomwaka guno, twebaza nnyo obukulembeze bwabakyala abali mu nteekateeka ezomukolo guno era tusiimye nnyo olwokulonda emirama egigenderera okukyuusa endowooza zabakyala nokwekulaakulanya mu mbeera ez’enjawulo, twebaza nnyo nabaami abeetabye mu ntegeka eno.
Njagala okuyozayoza Nnabagereka olw’okukola ennyo okutumbula obulamu bw’omukyala mu Buganda, twebaza Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga zabakyala awamu n’abakulembeze b’abakyala okuva mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo olw’entegeka ennungi bweti.
Nga sinnaba kubasiibula, Minisita waffe omukyala Prosperous Nankindu atutegeezezza nti oluusi Abakyala beesanga nga bakungaanidde mu hotel okutambuza emirimu gyabwe, nze nendowooza nti Abakyala ba nakazadde abayimirizaawo ensi yaffe basaana babe nga bakungaanira mu Lubiri lwe Mengo.
Njagala okuddamu nate okwebaza abakulembeze b’Abakyala okuva mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo olw’entegeka ennungi, ey’ekitiibwa ate ey’essanyu gyetubaddemu olwa leero, mwebale nnyo mwebalire ddala.