Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Abaweereza mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka basomesedwa ku ngeri gye bayinza okwetasaamu omuliro wamu n’okugutangira okusaasaana singa guba gukutte mu kifo webakolera oba mu maka gye bawangaalirira.

Omusomo guno guwomeddwamu omutwe aba Affinity Fire Solutions e Wandegeya nga bano batunda wamu n’okusomesa abantu okwetangira omuliro wamu n’okuguziyiza oba okugukomya singa guba gukutte.
Justus Emalu nga y’akulembeddemu okusomesa abaweereza ba Kabaka alaze nti bbo omulimu omukulu gwe batambuza kwe kumanyisa abantu akabaate akali mu butamanya ngeri gye bayinza okutaakiriza omuliro ne gutabakosa nnyo.”Ensonga lwaki tutendeka abantu ku kutaakiriza omuliro nga tubawa amagezi ag’ekikugu kwe kwewala okufiirwa obulamu b’ebyabwe singa balwawo okufuna obuyambi.” Emalu bw’ategeezezza.

Emalu mu ngeri y’emu asabye abaweereza ba Ssaabasajja okwekumisa ebyo ebibayamba mu kutaakiriza omuliro naye nga bagulira ddala ebyo ebimanyiddwa ku katale nga ‘Fire Extinguisher’ kyokka nga babikuumira ku mutindo buli mwaka wamu n’okwekuumisa ennamba ya poliisi etakiriza omuli eya 0800121222.
Ssebwana Dennis nga y’avunanyizibwa ku kulabirira ekizimbe Bulange alaze nti omusomo guno asinze kuguyigamu engeri y’okulabulamu abantu mu kizimbe nti omuliro gukutte nga tabakoseza kyokka n’ekwata y’abantu abo ababa bakoseddwa mu kakyankalano ako.
Moses Lutaaya, mugoba wa bidduka mu Bwakabaka anyonnyodde nti omusomo guno gumuyambye nnyo okumanya enkwata y’abaana abato singa omuliro guba gubaluseewo nga ali n’abaana be mu nnyumba, era ono agasseeko nti mu maka ge wakufuna ekifo w’ebakuŋŋaanira okwetaasa singa waba waguddewo obuzibu nga obw’omuliro.

Akulira abawereza mu gavumenti ya Ssaabasajja Josephine Namala asuubiza abaweereza ba Kabaka nti mu mwaka guno bagenda kwongera okubangulwa wansi w’enteekateeka ez’enjawulo ku lw’obulungi bw’obulamu bwabwe.









