
Bya Shafic Miiro
Kampala
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alaze obukulu bw’okusomesa abaana eby’emikono kuba kino kijja kuyambako okukendeeza ebbula ly’emirimu, ng’abattikirwa basobola okwetandikirawo eby’okukola.
Bino Kamalabyonna Mayiga abitadde ku bubaka bwatisse Minisita w’Obwakabaka ow’ebyenjigiriza, Owek. Cotilda Kikomeko Nakate ku mukolo gw’Okutikkira abayizi ba Victory School of Beauty abamaliriza abakuguse mu masomo ag’enjawulo.
Owek. Mayiga agambye nti emirimu bwe ginaatandikibwawo abo abalina obukugu, kijja kuyambako okutandikawo amakolero mu Ggwanga olwo ebiruubirirwa kya Buganda okudda ku ntikko ate wamu n’okwolesebwa kwa Uganda okwa 2040 bijja kutuukibwako.
Ono era yeebazizza nnyo abatandisi b’essomero lino olw’okwolesebwa ne batandikawo okusomesa eby’emikono, ky’agambye nti bakoze bulungi okukwasizaako Kabaka mu kusitula omutindo gw’embeera z’abantu be.
Ye Omumyuka Asooka owa Ssaabaminisita wa Uganda, Rt. Hon Rebecca Kadaga ategeezeza nti okutikkira omwana asomye eby’emikono kuba kufulumya muntu atandikawo emirimu eri ye ate n’abantu abalala bangi.
Bwatyo asiimye omutandisi w’essomero lino Mw. Kasibante Robert olw’okukwasizaako Gavumenti mu kusomesa omwana w’Eggwanga ate n’okufulumya abakozi eri ebitongole nga balina obukugu.
Omuyima w’essomero lino era Omumyuka wa Pulezidenti eyawummula, Edward Kiwanuka Ssekandi asuubiza okwongera okubunyisa ensomesa y’ebyemikono mu Ggwanga lyonna era ne yeebaza olw’obuwagizi Gavumenti bwebawadde mu buliwo ne mu bisuubizo byagambye nti babilondoola.
Ku mukolo guno, Minisita w’Ebyenjigiriza mu Uganda Hon. Janet Museveni, mu bubaka bwe obusomeddwa Dr. Monica Musenero agumizza bannabyanjigiriza nti enkyuukakyuka nnyingi ezikolebwa mu byenjigiriza ezitunuuliddwa okwongera okubiteeka ku mutindo.
Kitegeerekese nti abayizi abakunukkiriza mu 200 be batikiddwa ku kitendera egy’enjawulo era omukolo guno gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo.