
Bya Gerald Mulindwa
Nkoni – Buddu
Obwakabaka bukwataganye ne Centenary Bank okusimba emiti mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Nkoni mu Buddu. Ono omu ku kaweefube w’okusimba ekibira kya Kabaka okwetoolola Buganda mu kwerwanako okukuuma obutondebwensi.
Centenary Bank ewaddeyo endokwa 2500 nga zino zibalirirwamu obukadde 10 okuwagira kaweefube w’Obwakabaka ow’okusimba ekibira kya Kabaka e Nkoni mu Buddu.
Kawefube ono atongozeddwa Ssenkulu wa Nkuluze Omuk. John Kitenda. Agambye nti emiti egisimbiddwa gya kuyamba okufuna ebibala, okukuuma obutondebwensi buddemu okutojjera, n’okuvaamu eddagala, era ayagala enteekateeka eno ebeere eky’okulabirako eri Bannabuddu olwo obutondebwensi buddemu butinte.

Omuk. Kitenda ategeezezza nti emiti gino nga gikuze gyakusibwako obulambe bwa amannya ag’ekinnansi n’emigaso gya buli muti era kifuuke ekifo abantu gye basobola okuggya babeeko bye bayiga ate babitwalire abalala.
Yebazizza Centenary Bank olw’okuwayo emiti n’obuwagizi bwonna, bw’atyo n’asaba abantu ba Kabaka buli omu asimbeyo omuti mu makaage ku lw’obulungi bw’Ensi yaffe.
Teddy Nabakooza Galiwango, Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka, ku lwa Minisita Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, agambye nti okuzzaawo emiti naddala ginnansangwa kikulu nnyo ku luuyi lwe by’obuwangwa n’ennono kubanga abaana ab’omulembe oguliddawo balina okumanya amakulu g’okusimba emiti n’emigaso gy’agyo.
Ye Muhumuza Owaks Silver, ku lwa Centenary Bank, agambye nti kaweefube w’okukuuma obutondebwensi mu Bank azze eteekebwako essira kati emyaka 44 era balina okukkiriza nti okukwatagana n’Obwakabaka kya kubanguyizaako okutuukiriza ekigendererwa kyabwe eri obutonde.
Ku miti egisimbiddwa olwa leero, ogumu guweereddwa erinnya “Mutebi Nkoni” ate omulala Muyembe Nkoni.
