Bya Samuel Stuart Jjingo
Lubaga – Kyaddondo
Kabenge Joseph kati omugenzi ye taata w’Omuk. Fabian Kasi Ssenkulu wa Centenary Bank era Ssentebe wa bboodi ya BBS Terefayina, wabaddewo okumusabira mu lutikko e Lubaga.
Obwakabaka butenderezza emirimu egikoleddwa Mw. Kabenge Joseph naddala mu kukuza mutabani we avuddemu ebibala ebiganyudde eggwanga lyonna.

Bino bibadde mu bubaka Katikkiro bwatisse Omumyuka we Owookubiri era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa mu missa etegekeddwa ku Lutikko e Lubaga.Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti omugenzi yakuza bulungi abaana be era ekifanaanyi kye kirabikira mu mutabani we Omuk. Fabian Kasi.
“Tukirabira ddala nti ky’oli kati kyaviira ddala ku bakadde bo, abaakugunjula obulungi ne bakutwala mu masomero amalungi n’otuuka n’okukulembera bbanka enkulu mu Uganda ate n’ofuuka n’omuweereza wa Ssaabasajja Kabaka, nga kati okulembera bboodi ya BBS Terefayina,” Katikkiro Mayiga
Ssaabasumba Paul Ssemogerere, akulembeddemu mmisa yebazizza abaana b’omugenzi olw’okulabirira kitaabwe naddala mu biseera by’obulwadde. Mu ngeri ey’enjawulo yebazizza Omuk. Fabian olw’okusembezza n’okwagala kitaawe, nga ne mu kiseera wafiiridde abadde abeera naye mu maka ge.

Ye Omuk. Fabian Kasi ku lwa bamulekwa, yeebazizza bonna abababeleddewo mu kosoomozebwa kuno era yebaziza nnyo Taata we okubakuliza mu ddiini ekibayambyeko okutuuka webali kati.
Aba Rotary Club nga bakulembeddwamu “District Governor” wa Rotary Uganda Muky. Anne Nkuutu basiimye omugenzi olw’okukuzza abaana abagaala abantu nga kino kyeraga lwatu mu baana balese ku nsi.
Okusaba kuno kwetabiddwako Katikkiro eyawummula Owek. Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere, Minisita w’Enkulakulaana y’Abantu Oweek. Cotilda Nakate Kikomeko, ba Minisita abaawummula mu gavumenti ya Ssaabasajja, abakungu okuva mu gavumenti ya Kabaka, bannaddini, abakungu okuva mu Centenary Bank awamu ne Rotary n’abantu abalala.
