
Bya Samuel Stuart Jjingo
Lubaga – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubagizza Capt. Francis Babu olw’okufirwa mutabani we munnabyamizannyo, munnamawulire era munnabyabufuzi Cedric Babu Ndilima.
Obubaka bwe obw’okusaasira abutisse Minisita w’Amawulire, n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke amukiikiridde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu Lutikko e Lubaga.
Katikkiro agamba nti omugenzi akoze ebintu bingi mu muzannyo gwa “tennis” n’ebyemizannyo ebirala n’amawulire era alese eky’okulabirako eri abalala ate ng’aliko ne baakutte ku mukono okubasitula.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere akulembeddemu okusaba yeebazizza taata w’omugenzi olw’okukuliza mutabani we mu ddiini era n’asaba abantu bonna mu nzikiriza okusabira omwoyo gwe okugenda mu ggulu.
Ye Capt. Francis Babu, taata w’omugenzi yeebaziza abantu abamusuulidde omwoyo ne babeerawo mu kusiibula mutabani we era wano atenderezza mutabani we olw’okukwana emikwano emingi ennyo okwetolola ensi yonna egimuyambyeko okubeerawo mu bulamu bwe ate obulamu bwe ne bubeera bwa bibala. “Tugenda kumusubwa nnyo” Babu

Capt. Babu agamba nti mutabani we asukulumye nnyo mu by’akoze ku nsi era abadde amwenyumirizaamu nnyo mu byakola bwatyo n’asaba abantu bonna obutakaaba wabula bamwegatteko bajjaguze obulamu Katonda bw’awadde Cedric.
Cedric Babu Ndilima mutabani wa munnabyabufuzi Capt. Francis Babu, yafudde oluvannyuma lw’omutima gwe okulemererwa okuwanirira obulamu bwe, era yafiiridde mu Ggwanga lya Kenya gye yabadde atwaliddwa okufuna obujjanjabi.

Okusaba kuno kwetabiddwamu Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Katikkiro eyawummula Owek. Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere, Amyuka Omukubiriza w’Olukiiko lw’Eggwanga Rt. Hon. Thomas Tayebwa, Baminisita mu gavumenti eyawakati Gen. Jim Muhwezi, Hon. Balaam Barugahara, Hon. Sam Kuteesa, Muwala wa Pulezidenti Natasha Karugire ne bba n’abakulu abalala mu gavumenti n’abavudde ebweru w’eggwanga, n’abeemikwano abalala.