
Bya Shafik Miiro
Lubaga – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abakkiriza abeetabye mu kusaba kwa Sekukkulu okunyweza obumu era bafumintirize ne ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka bweyawadde bwebaba baagala okutambula obulungi mu ggandaalo lino n’omwaka omuggya.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde atuusa obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka eri abakkiriza abeetabye mu kitambiro kya mmisa mu Lutikko e Lubaga ku Lwokusatu nga kino kiyimbiddwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere.
Owek. Mayiga ategeezezza nti Omutanda yakakasizza nti obulamu bwe bwongedde okutereera era abantu tebasaanye kuggwamu ssuubi era babeere bavumu. Beene yasabye abantu be obutabeera batiitiizi era babeere abalengera ewala, abatava ku mulamwa.
Nnyinimu abavubuka yabakuutidde okusooka okwebuzaanga ku bantu abakulu mu byonna bye bakola, era banyweze ennono. Ensonga enkulu endala Kabaka yabalagidde okulwanyisa obwavu era banyikire okulima emmwanyi era baawule ekituufu ku kikyamu.
Kamalabyonna annyonnyodde nti Beene yalabudde ku nsonga y’ebigwo abitaggwa mu ntuula za Paalamenti nga zino zituuse nemu nkiiko ezawansi.
Maasomoogi yakubiriza abantu okubeera abengendereza mu kiseera ky’akalulu akasembedde, batunulire abo abasoosowaza ensonga za Buganda mu Uganda eyaawamu.

Bw’abadde ayogera, Katikkiro Mayiga ajjukiza abantu ba Buganda ku nsonga y’Obumu nga Ssemasonga ey’okutaano, ng’agamba nti ebisoomooza tebiggwawo kyokka abantu bwe banaayiga omugaso gw’obumu bajja kutuuka ku buwanguzi obw’enjawulo.
Owek. Mayiga ayongeddeko nti buli muntu asaana okussa ekitiibwa mu balala kye bakiririzaamu, asimbulizza ne ku bigambo bya Ssaabataka ku Matikkira aga 31 nti “Bwetunaabeera Obumu, omulabe ajja kubulwa waayita”
Ono ayagaliza Obuganda okuyita mu nnaku enkulu obulungi n’omwaka omuggya okubeera ogw’emirembe.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere okuyigiriza akwesigamizza ku bigambo bya Ppaapa naasaba abakkiriza obutaggwamu ssuubi mu mbeera yonna, era babeere abagumikiriza abawaŋŋana ekitiibwa, okwagalana, ate n’okusiima n’ekyo Katonda ky’abeera abawadde.
Akubirizza abazadde mu luwummula luno okubuulirira abaana, okubakubiriza n’okubayigiriza okukola emirimu olwo babasigemu empisa nga bakyali bato bakule nazo.
Ku lwa Gavumenti eyawakati, Minisita Omubeezi ow’Ebyenjigiriza ebyawaggulu, JC. Muyingo akulisizza abantu okutuuka ku lunaku lwa Ssekukkulu era n’asaba abazadde okulabirira obulungi abaana mu luwummula luno, okubakomako ku nkozesa y’emitimbagano naddala nga babeewaza obuseegu obuyitiriddeko ensangi zino.
Akulira ekibiina ki National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu naye asinzidde mu kusaba kuno, n’asaba abantu ba Katonda okusabira abantu abali mu makomera, n’asaba ne bekikwatako, okuwa obwenkanya eri abasibe.
Kyagulanyi naye asoomozezza n’abazadde okukozesa ebiseera eby’eggandaalo okusomesa abaana baabwe ebintu eby’enjawulo naddala empisa.
Okusaba kuno okujjuzizza Lutikko wakati mu nkuba ekkedde okutonnya, kwetabiddwamu abantu Bannaddiini, Abakulembeze mu Gavumenti ya Kabaka, Gavumenti eyawakati, Bannabyafuzi, n’abantu abalala mu biti eby’enjawulo.









