Bya Samuel Stuart Jjingo
Nakakongo – Buddu
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala akoowodde ebika okuteekateeka obukulembeze bwabyo byeyongere okukulaakulana. Bino abyogedde bw’abadde azzeemu okulambula Ebika bya Buganda nga atandiise n’Ababiito be Ssanje ku kyalo Nakagongo Mut XIX Kasasa ssaza Buddu.

Minisita Wamala asinzidde wano n’abasaba okuzza amaaso ku kika kyabwe nga bassa amaanyi mu kuteekateeka n’okunyweza obukulembeze ku mitendera gyonna basobole okukola emirimu n’obukugu.
“Obukulembeze obulungi bwe busobola okweŋŋanga ebizibu ebisoomooza Ebika n’okusala entotto Ebika binyweere,” Minisita Wamala.
Oweek. Wamala agamba nti Ebika bisaanidde okukulemberamu omulimu gw’okukunga abazzukulu bwabyo nga biyita mu bukulembeze obuteeketeeke kibayambeko okwanguya emirimu egikolebwa mu kika.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba Namwama yeeŋbaziza nnyo Ssaababiito olw’okubeera omujjumbize mu nkiiko z’Abataka abakulu ab’Obusolya awamu n’okuteeka ekibumbe ky’ekika ku luguddo lwa Kabaka Anjagala.
Namwama abasabye okwetaba mu musomo ogutegekeddwa Obwakabaka ku nnono ogujja okubeerawo nga 24 Omwezi ogw’ekkumi basobole okuyiga obulombolombo n’ebyafaayo ebikwata ku buwangwa bwabwe.

Ssaababito w’e Ssanje Omulangira Kalema Paul Ssajjalyambuga asabye Obwakabaka okubakwatirako mu by’enkulaakulana Ekika kyabwe bye kirubirira okutuukiriza okugeza nga amasomero n’okubakwatirako mu nsonga zaabwe nga Abataka abakulu Ab’Obusolya.
Omumyuka wa Pookino Asooka Mw. Sserwanja Yozefu Mukasa asaasidde Ab’Olulyo Olulangira okuvibwako Omulangira Mawanda Kyabaggu n’ategeeza nti Olulyo luno luzze luzaala abantu abavuddemu okubeera ab’ensonga mu ggwanga lino.
Ono ayogedde ku byobulambuzi ebiri mu kitundu kino okutudde Obutaka b’Ekika kino okuli Ssango Bay Plain, Omugga Kagera, Ekizinga Musambwa n’ebirala n’asaba Minisita okulowooza ku kubafisizaayo akadde abilambuleko
Minisita alambuziddwa pulojekiti eya yiika 10 okutudde emmwanyi n’ebitooke eby’ekika kino bwatyo n’abasaba okufaayo ennyo ku nnimiro eno nga bagoberera ennima y’omulembe Omutebi.
Obwakabaka bwateekawo kaweefube w’okutalaaga obutaka bw’ebika byonna nga erimu ku kkubo erikunga abazzukulu bonna okudda mu bika byabwe awamu n’okujjukiza abakulembeze b’ebika obuvunanyizibwa bwabwe nga mu kasera kano Minisita w’Obuwangwa yakalambula ebika 33. Olulyo luno lulina Emituba 11 awamu n’Enyiriri 70.
Okulambula kuno kwettabiddwaamu Omumyuka wa Pookino Asooka Mw. Sserwanja Yozefu Mukasa, Katikkiro w’Ekika kino Col. Peter Mukasa, Abalangira n’Abambejja, ba Ssaava ne ba Naava, abakulembeze okuva mu gavumenti eyawakati n’Obwakabaka.










