Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Bannabyabufuzi abesimbyewo ku bwanamunigina nga bano tebalina bibiina byabufuzi byonna kwe besigamye bakiise embuga okumanyisa ebiruubirwa byabwe singa banaalondebwa mu bifo by’obukulembeze ebitali bimu.

Mu kwogerako gye bali, Katikkiro Charles Peter Mayiga asoose kukunga bannayuganda bonna okwenyigira mu kulonda.
“Obwakabaka bwa Buganda bukubiriza buli yenna eyewandiisa agende alonde, okulonda okusooka okwa pulezidenti n’ababaka ba paalamenti n’okulonda okuddirira kyokka tukyemanyize nti mu buli kulonda waliwo okuwangula n’okuwangulwa” Katikkiro Mayiga bw’ategezeza.
Katikkiro Mayiga anokoddeyo ebimu ku bisanyizo omubaka wa paalamenti by’ateekedwa okuba nabyo okuli omubaka okulumirirwa abo baakiikirira, “okulumirirwa abantu b’okiikirira tekitegeza kuwa bantu ssente wabula kukola kintu kituufu okugeza omubaka wa paalamenti tazimba nguudo, ssi y’azimba amalwaliro, wadde amasomero wabula omubaka wa paalamenti agenda n’ateesa nti oluguudo lwaffe lukolebwe, ekitundu kyaffe kizimbibwemu essomero nti eddwaliro ly’e Mityana liteekebwemu eddagala n’ebirala, omubaka ebyo by’alina okukola”
Owek. Mayiga era alaze nti kisaanidde Omubaka wa paalamenti yenna okuba n’obusobozi naddala nga muyivu olwo lw’asobola okuteeseza b’akulembera ebigasa, eggwanga n’abantu b’ebitundu be bakiikirira kuba okumanya ebizibu by’eggwanga kyetaagisa obukugu obwenjawulo obutali bwa mateeka bwokka abangi kwe bassa essira.
Kamalabyonna asabye bannayuganda okukuuma emirembe naddala nga enjuyi zombi okuli abakuumaddembe wamu n’abalonzi tekuli asosonkereza munne wadde okulumbagana wakati mu kusuula obululu.
Omubaka wa Kalungu East Katabaazi Francis Katongole era eyegwanyisa okudda mu kifo kye kimu alaze banne bwe bavuganya obuteesiba we batabalabamu mugaso, baseetuke baveewo kuba bbo bawanguzi mu bifo mwe bavuganyiza era ono mu ngeri y’emu asabye abalonzi obutalondesa kinyumu, wabula bakube ttoocci okufuna abamanyi okubakiikirira.

Ye eyegwanyisa okufuuka omubaka wa bakozi mu paalamenti Phina Mugerwa Masanyalaze asiimye nnyo Katikkiro olw’okukoma ku bannabitone abaali bakozesa olulimi oluwemula era ono yeyamye okunyiikira okubaga etteeka erikomya ekikolwa ekyo singa anaaba alondeddwa mu paalamenti.
Latif Ssebagala nga ye yegwanyiza kya Mmeeya wa Kawempe asabye banne bwe baagala okuweereza bannayuganda okusoosowa ensonga za Buganda zonna kuba esembeza buli muntu mu kiti kye.
Bano bazze esigadde olunaku lumu okulonda kubeewo mu Uganda ku kifo ky’Obwapulezidenti n’ababaka ba Paalamenti.









