Bya Musasi waffe
Akulira akakiiko akafuga eby’okulonda muggwanga, Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Simon Byabakama Mugyenyi akubiddwa mumbuga nga baagla alekulire ekifokye kino kuba akirimu mubukyamu. Mumusango gwebatadde mu kkooti enkulu etuula mu Kampala, Lord mayor Erias Lukwago, Patrick Amuriat, akulira ekibiina kya FDC, Salaam Musumba, amyuka ssentebe w’ekibiina kya FDC, Betty Nambooze, omubaka wa palamenti akiikirira ekibuga kye Mukono, Michael Kabaziguruka, omubaka akiikirira Nakawa, Sabiiti Chrissy Jack, Wafula Oguttu, Okello Albert Charles, Nyanjura Doreen, Okello Kennedy, Ingrid Turinawe, Okello George Ekwaru, Wakabi Dominic ne Nabatanzi Cissy bebaagala Byabakama afiirwe ekifokye. Mumpaaba yaabwe mwebatwalidde n’akakiiko k’eby’okulonda wamu n’omuwandiisi waako Sam Rwakoojo, bagamba nti kimenya mateeka Byabakama okukulira akakiiko kano nga tasoose kulekulira kifokye ng’omulamuzi wa kkooti ejulirwamu. Baagala kkooti enkulu emuwalirize alekulire. Kkooti tenalaga ddi lw’egenda kutuula okuwulira omusango guno wabula abawawabirwa balina ennaku 15 okuwaayo empoza yaabwe. Bino webijjidde, ng’akakiiko keetekateekera okulonda kwabwonna okunaabaawo mu 2021, okusuubirwa okuba okwakaasammeeme. Kinajjukirwa nti Byabakama yalondebwa nga Musenene 18/2016 okukulira akakiiko kano oluvanyuma lw’ekisanja kya Badru Kiggundu eyakakulira okumala emyaka 10 okuggwako.