Bya Musasi waffe
Minisita w’Ebyobulimi mu Buganda Owek. Hajj Amiisi Kakomo agenyiwaddeko mu ssaza Ssingo n’asisinkana abamu ku balimi Katikkiro baanalambula mu kaweefube wa Emmwanyi Terimba.
Oweek Hajj Amiisi Kakomo asisinkanye abalimi n’abeegassi aba Myanzi Coffee Farmers Cooperatives Savings and Credit Society Limited mu ggombolola Mutuba VII Myanzi , ggombolola Musaale Bulera ate ne Mumyuka Busimbi.

Asinzidde mu kulambula kuno n’akubiriza bannassingo okwongera okwenyigira mu kulima emmwanyi, kubanga ze zituunuliddwa okusitula ebyenfuna bya Buganda naddala ennyingiza mu maka.
Ye Omumyuka wa Mukwenda Owookusatu, Mwami Jumba Stephen ategeezezza nti bannassingo omulimu gw’okulima emmwanyi, bbo ng’abakulembeze baakwongera okubakubiriza okujjumbira kubanga eri abo abaatandikako, emmwanyi zikoze kinene nnyo okukyusa obulamu bwabwe n’embeera mwe bawangaalira.
Katikkiro ajja kulambula abantu ba Kabaka mu Ssaza Ssaabagabo Ssingo mu kaweefube wa Emmwanyi Terimba nga 12 Ssebaaseka, 2025.
