
Bya Musasi waffe
Essaza ly’e Masaka eribadde litegeka okulamaga e Namugongo omwaka guno ligambye olw’ekirwadde kya coronavirus ekigenda mu maaso nga kyeriisa enkuuli mu nsi yonna livudde mu nteekateeka eno.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandiikiddwa Omusumba w’e Mityana Anthony Zziwa, akulira olukiiko lw’abasumba olumanyiddwa nga Uganda Episcopal Conference, Omusumba w’e Masaka Serverus Jjumba yamutegeezezza nti Uganda nebwekkiriza abantu okuddamu okukungaana, tekikyasoboka kuba na kulamaga omwaka guno kubanga obudde obusigaddeyo tebumala.
Jjumba yategeezezza nti okutegeka okulamaga kitwala obudde wamu n’esimbi nnyingi nnyo ddala ng’era kyetaagisa enkiiko ez’enjawulo wakati w’ab’ebyokwerinda wamu n’olukiiko olutegesi.
Buli nga June 3, abagoberezi ba Kurisito beeyiwa e Namugongo okujaguza okuttibwa kw’abajuluzi.
Bano battibwa ku biragiro bya Ssekabaka Daniel Mwanga, olw’okumujeemera.
Guno gwegunda okuba omulundi ogusoose obutabaayo kulamaga bukyanga June 3 lukuzibwa ng’olunaku lw’okujjukira abajuluz mu Uganda.








