
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuka asooka owa Katikkiro era avunaanyizibwa ku ntambuza y’ emirimu mu Bwakabaka, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase asabye abagenda okukola enguudo mu Lubaga basooke kwebuuza ku Buganda obutataaganya bifo bya nnono n’obuwangwa.
Okuwabula kuno Owek Kaawaase. akukoledde mu nsisinkano gyabaddemu n’abakulira akakiiko k’ebyenguudo aka KCCA mu divizoni ye Lubaga ababadde bakuliddwamu Mmeeya Zacchy Mberaze Mawula abazze e Bulange e Mmengo ku Mmande okwanja enteekateeka gyebalina okuddaabiriza enguudo mu Lubaga.
Owek. Kaawaase abategeezeza nti Obwakabaka bugenda kwongera okwekeneenya ensonga eno kyokka nabawa amagezi obutabaako kyebakola nga tebasoose kwebuuza ku Buganda kuba basobola okutaataaganya ebifo by’Obuwangwa n’ennono ebiri mukitundu kino.
Mu ngeri yeemu, Owek. Kaawaase bano abasabye okuwa bannansi omukisa nga bagaba Kontulakiti ezisigaddeyo kiyambeko okuwagira emirimu gya bannansi awamu n’okutondawo emirimu.

Kino kiddiridde abakugu bano okumwanjulira enteekateeka y’okuzimba enguudo awamu n’ekiteeso ky’okukyuusa enkulungo ya Nnantawetwa okusobola okugaziya enguudo eziriwo nokutumbula ekifananyi kyaayo.
Mu nteekateeka gyebalina, enkulungo ya Nnantawetwa ebeera egenda kusigalawo wabula wansi waayo wateekebweyo oluguudo okugatta kwezo eziriko essaawa eno.
Bano era banjudde enteekateeka gyebalina ku nguudo endala eziriko ebifo bya Buganda ebyenkizo omuli Amasiro ge Kasubi awamu n’ennyanja ya Kabaka nebalaga nga bwebagenda okukola kilomita z’enguudo eziwerera ddala 70 mu nteekateeka eno.

Mmeeya Mberaze ategezezza nti baagala kuwa Lubaga ekifaananyi ekipya era kibadde kibakakatako okujja okusaba Obwakabaka olukusa nokwanjula enteekateeka yaabwe.
Yinginiya eyeebuzibwako ku Puloojekiti eno mu KCCA, Eng. Rogers Ssemugooma agamba nti enteekateeka ngazzi era nga baakuteeka ebitaala ku nkulungo ezenjawulo mu lubaga ngokussa ebitaala wano ku Nnantawetwa kyekimu kubibaleese embuga okwebuuza engeri kyekiyinza okukolwamu ngabafunye oludda lwembuga.
Enteekateeka yokuzimba enguudo mu Lubaga ngazi ddala wabula ngensimbi eziriwo kati obukadde bwa ddoola 288 enguudo 12 mu Lubaga zezigenda okuzimbibwa kyokka engeri eky’okukyusa Nnantawetwa bwekitanaba kugulwa Bwakabaka ensimbi eziyinza okukozesebwa tezinayogerwa.









