Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde bataata mu maka okufaayo ku baana babwe abalenzi bwebaba baagala babeere bamugaso munsi beewale okukula omuwawa.
Obubaka buno abutisse Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde amukiikiridde okutongoza akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abaana mu Buganda ku mukolo oguyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Olunaku luno lujja kubaawo omwezi ogujja (Febraury) nga 12 mu Lubiri lwa Ssabasajja e Mengo, wansi w’omulamwa,”Eddoboozi lya baana lya mugaso nnyo mu nkulaakulana ya Buganda.”
Owek. Mayiga nti Obwakabaka abaana bubatwala ddala nti bamakulu mu nkulaakulana era y’ensonga lwaki Omutanda yasiima atandikawo ensawo eweerera abayizi saako okutandikawo Nursery ku mbuga z’amasaza gonna mu Buganda.
Ono agattako nti omwana bwalambikibwa mu myaka egisooka olwo nga ajja kuvamu omuntu ow’omugaso era agasa eggwanga lye.
Katikkiro Mayiga abasabye nti munteekateeka eno baleke kwogera nabaana bokka wabula bafunire nabazadde obubaka bwabwe obubayamba okufuuka abazadde abajjuvu kuba bano beebasobola okuvaamu omwana eyeesiimisa.
Ono ategezezza akakiiko nti kafube okusoosowaza ensonga z’omwana omulenzi kuba abaana abalenzi bakuziddwa nga tebalina buvunanyizibwa ekitadde omwana omuwala mu katyabaga.
Minisita w’embeera z’ abantu mu Bwakabaka, Owek Mariam Mayanja Nkalubo ategezeza nti minisitule efuba okulaba nga bayigiriza abaana olulimi lwabwe wamu n’okutegera obulungi omulamwa ogwo oguba gubaweredwa.
Okukiiko olutongozeddwa kuliko Omuky. Esther Nakafuko nga ye ssentebe, Luke Siduda amyuka ssentebe, Hellen Grace Namulwana muwandiisi kwossa ne bamemba okuli Oweek Rashid Lukwago,Kevin Mubuuke, Paul Musoke nabalala bangi.
Ssentebe w’ akakiiko kano, Esther Nakafuko aweze kulwa banne okukola ekyetaagisa enteekateeka eno okutambula obulungi.
Olunaku lw’abaana mu Buganda olw’okubaawo omwezi ogujja (Febraury) nga 12 mu Lubiri lwa Ssabasajja e Mengo.