Nnabagereka asabye abazadde okukwatizaako abaana okukomya okutulugunyizibwa. Bino abyogeredde mu musomo gw’okubaganya ebirowoozo ku nsonga eziviirako abaana abawala okuwanduka mu masomero nebafumbirwa nga tebanetuuka n’engeri gyebasobola okumalawo embeera eno.
Nnabagereka bwabadde ayogera agambye nti kyandibadde kirungi abazadde okuteekawo embeera ebayamba okuwuliziganya obulungi n’abaana basobole okumanya ebibanyigiriza era babafuule mikwano gyabwe nga basobola okubabulira ebibanyiga.
Bajjajja abataka nga bakulembeddwamu Omutaka Kayiira Gajuule, basomesezza abaana ku ngeri gyebalina okweyisaamu nga bantubalamu wamu n’okuwa abakulu ekitiibwa.
Omukolo guno gwetabiddwako ba Minisita ba Kabaka,awamu n’abakungu okuva mu World Vision era nga gubadde ku Hotel Africana mu Kampala. Omusomo gutambulidde wansi w’omulamwa, ” Okusibusa obuntubulamu ku lw’okukomya okufumbiza abaana abatanetuuka”.