• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okukkiririza mu by’Obuwangwa tekitegeeza kusiiwuuka – Minisita Wamala

Gambuuze by Gambuuze
March 27, 2026
in Amawulire
0 0
0
Okukkiririza mu by’Obuwangwa tekitegeeza kusiiwuuka – Minisita Wamala
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo Kyaddondo

Ab’enzikiriza y’Obuwangwa bakubiriziddwa okwekuuma n’endabika ennungi Ab’enzikiriza y’Obuwangwa abeegattira mu kibiina “Abeerufu Traditional Healers” bakiise Embuga mu Bulange e Mmengo okugula emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka, era Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda Owek. Anthony Wamala y’agibakwasizza.

Minisita Wamala asanyukidde endabika ya bano era n’abakubiriza okugikuuma basobole okusikiriza abantu okubatuukirira nga tebabeesittaza.

“Ab’ebyobuwangwa bano mbakubiriza bulijjo okuvaayo nga banyirira, era nga basanidde nga bano bwe bafaanana kituyambe obutalowoozesa bantu nti obuwangwa kiteegeza kuba muntu wa wansi, omuntu atasanidde era atasemberezebwa oba atanaaba, twagala abantu abalabika obulungi nga bano abazze wano olwa leero kale mbakubiriza mukitwale mu maaso” Minisita Wamala.

Owek. Wamala asiimye omutima gwa bano okuba nti bali mu myaka gya buvubuka wamu n’abo abigisuumuuseemu katono kyokka nga balina okwagala eri obuwangwa bwabwe n’okubutumbula okuyita ku mutimbagano ate nga bagoberera enteekateeka z’Obwakabaka nga okugldduka emisinde nga bwe baguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa okugatta ettofaali ku kulwanyisa mukenenya.

Akulira ekibiina kya Abeerufu Traditional Healers Mw. Kasiko Mutaasa akubirizza bannabuwangwa mu nsi yonna okukwatirako Kabaka mu buli nteekateeka yonna eyanjulwa embuga okuli emisinde gy’amazaalibwa ge, olwo nabo balwanyise mukenenya mu maka gaabwe kwossa n’okugoberera ennambika ebaweebwa ku byobulamu n’okwekuuma nga balamu.

Dr Naluwula Juliet nga naye atambuza emirimu mu kibiina kya Aberufu Traditional Healers asabye abakyala okyusa endaba yaabwe ey’ebintu nga bekuba mu mitima okwekuuma abasajja be basanga mu masinzizo gaabwe nga abasamize kubanga bbo abakyala emirundi mingi be basinga okukosebwa ekirwadde kya siriimu nga basulibwawo abaami baabwe.

Bano baguze emijoozi gya mitwalo ataano nga beyune okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Beene egiriyo nga 12/04/2026 mu Lubiri e Mmengo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist