Bya Ssemakula John
Mateete – Mawogola
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abalimi okufaayo okugatta omutindo ku mmwaanyi, bazenywere mu kkaawa era nasaba abo bonna abaagala okugatta omutindo ku mmwaanyi bayambeko ku balimi okukuuma omutindo gwazo so si kuziguza bagwiira.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde Bannamawogola ku Lwokubiri bw’abadde abalambula wansi w’enteekateeka y’Emmwaanyi Terimba okubazzaamu amaanyi n’okubawa amagezi ku ngeri gyebasobola okufuna okwongera okuzifunamu.
“Bingi ebyogerwa ku kugatta omutindo ku mmwaanyi mubiwulira era Obwakabaka bwa Buganda buwagira ensonga y’okugatta omutindo ku mmwaanyi naye okugatta omutindo ku mmwaanyi tekitegeeza kuziguza bagwiira. Bwetusiika kkaawa nga aba Mateete Cooperative netumunywa awo tuba tuli ku mutendera omukulu ogugatta omutindo ku mmwaanyi zaffe,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Katikkiro Mayiga agamba nti abaagala okugatta omutindo ku mmwaanyi balina kubiriza bantu kukozesa ebigimusa by’obusa okusinga ebiva mu maduuka, bafeeyo ku ngeri abantu gyebanogamu emmwaanyi n’okuzaanika era babakubirize okuzisunsula era bazeesiikire.
“Ekisembayo oyo ayagala okugatta omutindo ku mmwaanyi akubirize abantu okunywa kkaawa. Bino byogedde newali mukibuga Kkaawa tagenda kubalwaza ntunuusi, abakadde abo bonna abali awo balina entunuusi kyemugamba basooka kunywa kkaawa mbadde bakulira ku majaani,” Katikkiro Mayiga bw’akakasizza.
Mu ngeri ey’enjawulo asanyukidde aba Mateete Area Cooperative Ltd. olw’okwongera omutindo ku mmwaanyi nebazikolamu kkaawa kuba mu ngeri eno batondawo obutale bwebyo byebakola kuba tebasobola kubeera Uganda ate nga bamusiikira Bulaaya.
Ono akubirizza bannayuganda okwettanira okunywa kkaawa nti kino kijja kuyamba obugagga obuva mu kukola kkaawa okusigala wano nekiyamba okutondawo amakolero agawa abalala emirimu era kirinyise ebbeeyi olw’obwetaavu.
Katikkiro Mayiga era asinzidde Mawogola natongoza ekiwandiiko ekiriko emitendera 16 omulimi w’emmwaanyi gyayina okuyitamu afune akakadde k’ensimbi buli mwezi okuva mu yiika y’emmwaanyi.
Owek. Mayiga era akwasizza abalimisa b’obwakabaka ab’amasaza gonna pikipiki 18 bagende batuuse ku balimi enjiri ekwata ku mmwanyi n’okwekulaakulanya.
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi n’obweggasi mu Buganda, Owek. Hajji Amis Kakomo asinzidde wano neyeebaza Beene olw’okugabira abalimisa be Pikipiki basobole okulambula abantu be era bayambeko abalimi okunyweza ennambika ku nsonga y’okulima emmwaanyi.
Owek. Kakomo yeebazizza abalimi b’e Mawogola awamu n’abeggasi olw’okufuuka eky’okulabirako mu lugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko.
Ye minisita w’ensonga z’amawulire mu Bwakabaka, Owek. Noah Kiyimba abantu abasabye okufaayo ku mutindo olwo basobole okuyaayaanirwa abaguzi ku katale k’ensi yonna.
Ono annyonnyodde nti kizibu okwawula obweggasi ku kulima emmwaanyi bwatyo nasaba abantu obutasaagira mu nsonga eno bwebaba baagala okugenda mu maaso.
Omwami w’essaza Mawogola, Muhammad Sserwadda agambye nti kaweefube w’emmwaanyi watuuse ali waggulu kuba Katikkiro Mayiga abalimi baazo abalambudde nakakasa nti bagenda ku ntikko era egenda kukyuusa embeera z’abantu.
Owek. Sserwadda agambye nti abalimi mu Mawogola bafuddeyo okulima mu nnima ey’omulembe nga bafukirira n’okugattako omutindo okusobola okuzifunamu ekiramu.