
Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Obwakabaka bwa Buganda buttukizza enteekateeka y’okugaba omusaayi okwetooloola Buganda kiyambe okukendeeza ku bbula ly’omusaayi eriri mu ggwanga.
Kino kirangiriddwa Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation, Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala bw’abadde mu musomo gw’abakulembeze b’ekitundu ky’e Kyaggwe ku enteekateeka y’amasaza okugaba omusaayi e Ggulu mu Mukono ku Lwokuna.
“Ssebo Ssekiboobo ekituleese wano e Ggulu kwe kulaba nga tutuukiriza ekiragiro kya Nnanyininsi ate era n’okulaba nga tutaasa obulamu bw’abantu abeetaaga omusaayi.” Omuk. Ndagala bw’ategeezezza.
Ono alaze nti enteekateeka eno egenda kubaawo nga 7/02/2022 okutuuka nga 11/02/2022.
Okusinziira ku Ndagala, ekibiina kya Red Cross bwe kyasaba ekitongole kino obuyambi yategeeza Beene eyawa ekiragiro okukung’aanya omusaayi mu masaza ge gonna era n’alagira nti mu myaka 2 ekizibu ky’abantu okufa olw’ebbula ly’omusaayi kibeere nga kiweddewo.
Ndagala agamba nti tannalagira kukung’aanya musaayi mu masaza, Obwakabaka bubadde buwa ekitongole kya Red Cross emirundi ebiri buli mwaka mu mwezi gwa February ne October nga bakozesa ekiseera abaana we babeeredde mu masomero wabula yadde gubadde bwegutyo ekizibu ky’ebbula ly’omusaayi kibadde kikyalemeddewo.
Kino kyawaliriza Nnyinimu okubalagira bagende mu masaza, Ndagala era annyonnyodde nti Beene agenda kusiima essaza erinaaba lisinze okugaba omusaayi okutaasa obulamu bw’abantu be nga kino kyakubaawo mu mwezi ogwomunaana omwaka guno.
Ndagala asiimye Buddu olw’okuteekawo okuvuganya okwamaanyi wakati mu kusoomoozebwa okwamanyi okwaliwo olw’ensonga nti enteekateeka eno yali etandika butandisi naye ne bakung’aanya yuniti z’omusaayi eziwera 8,169 olwo Busiro n’eweza yuniti 9,345.
Kyaddondo yasobola okukung’aanya 18,346 ate Ssingo n’evaayo ne Yuniti 13,200 n’ebeera nti akadde kano yeeri mu kifo ekyokubiri.
Omukwanaganya w’ebyokugaba omusaayi mu Red Cross, Sarah Mutegombwa ategeezezza nti omusaayi okugukanyizibwa mu Uganda tegumala bw’ogerageranya n’abantu abagwetaaga n’asaba abantu bonna okujjumbira enteekateeka eno kitaase obulamu.









