
Bya Gerald Mulindwa
Kololo – Kyaddondo
Obwakabaka bukubagiza munnabyanfuna Sudhir Ruparelia olw’okufiirwa omwana Rajiv RupareriaKatikkiro Charles Peter Mayiga atuseeko mu maka ga Sudhir Ruparelia e Kololo okumukubagiza n’aboomumaka ge olw’okufiirwa omwana waabwe we mu mbeera eyamangumangu.

“Okufa kwonna kwonna kibeera kyekango, kyokka omuzadde okufiirwa omwana kisukka ku kubeera ekyekango ate nga ekyekango ekyo emirundi mingi kisinziira ku ngeri omuntu gy’afaamu” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga alaze okunyolwa olw’engeri Rajiv gye yafuddemu n’agamba nti omuntu okufa akabenje ng’ate yabadde azze ku lwa mbaga ya mukwano gwe, n’afuna n’ekiseera okulya ekyemisana n’abaawaka ate oluvannyuma mu kiro n’awulirwa nti afudde, kikangabwa kya maanyi nnyo.
“Obwakabaka bukungubagira wamu ne Mw. Sudhir kubanga ono musajja wa Kabaka ddala era awagira ensonga z’Obwakabaka ez’enjawulo nga ne mu kiro omwana we mwe yafiiridde, akawungeezi ako Sudhir yetabye ku kyeggulo ki ‘Queen’s ball’ ekitegekebwa ekitongole kya Nnaabagereka Women’s Fund okusonderamu ensimbi ez’okubudaabuda y’okulwanyisa endwadde z’emitwe ng’ono yawaddeyo n’obukadde 25 okudduukirira enteekateeka eno” Owek. Mayiga.

Owoomumbuga ategeezeza nti kizibu kya kutegeera mbeera abazadde gye bayitamu mu kiseera kino, wabula okubasabira Katonda abagumye n’omugenzi amulamuze ekisa.
Rajiv Ruparelia ku myaka 35 yafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Busaabala mu ggombolola Makindye Ssaabagabo mu mmotoka gye yabadde avuga Nissan GTR nnamba UAT 638L ng’ava Kajjansi adda Munyonyo. Yatomedde emisanvu gy’okuluguudo emmotoka n’emulemerera era n’ekwata omuliro n’ebengeya yonna.
