Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ya Buganda Road eyimirizza okuwulira omusango oguvunaanibwa omubaka Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine ne banne olw’okuwakanya omusolo gwa ‘OTT’ awamu n’okwekalakaasa.
Kyagulanyi yakwatibwa poliisi natwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okutegeka okwekalaasa mu mwaka gwa 2018.
Ku ntandikwa y’omwaka guno munnamateeka wa Kyagulanyi ne banne Anthony Wameli yasaba omulamuzi omusango aguyimirize, fayiro agiwereze mu kkooti etaputa ssemateeka kubanga Kyagulanyi ne banne etteeka lye bagambibwa okumenya likontana ne Ssemateeka.
Wameli yategeeza kkooti nga etteeka erivunaanwa Kyagulanyi bwelikontana n’etteeka nnamba 29 erya ssemateeka eribawa eddembe okukungaana, okwogera wamu n’okutambula.
Omulamuzi wa kkooti eno Doreen Kalungi, leero yategeezezza nti kkooti ye terina buyinza kutaputa musango guno bwatyo fayiro nagiweereza mu kkooti etaputa ssemateeka egitunulemu.
Kalungi era yalagidde abawaabi n’abawawaabirwa okudda mu kkooti nga 5/11/2020 okumanya kkooti ya Ssemateeka wenaaba etuuse ku nsonga eno.
Kyagulanyi avunaanwa n’abalala okwali mukulu we Fred Nyanzi Ssentamu, Julius Katongole, David Lule, Edward Sebuufu aka Eddie Mutwe awamu n’abalala abakyalya obutaala.