Obwakabaka busisinkanye abakulu b’Ekitongole kya Wells of Life okukubaganya ebirowoozo okulaba omukago gwebatta bwegutambula.

Katikkiro agambye nti ekizibu ekisinga okuvaako obwavu ly’ebbula ly’amazzi kubanga atalina mazzi tasobola kuba muyonjo, era wano Katikkiro akubiriza abantu okuba abayonjo basobole okwewala endwadde eziva ku bujama era nakubiriza bantu okufaayo ennyo okukola bave mu bwavu.
Katikkiro akubirizza abantu ba Kabaka bakuume nayikondo ezabawebwa awamu n’ezo ezigenda okusimibwa bulungi kubanga ky’ekirabo Kabaka kyabawadde nga ayagala bafune amazzi. Era wano agambye nti basuubira ebbanga ly’omukago werinaggwerako nga Ssaabasajja alina kyakozeewo ku nsonga y’amazzi mu Buganda.
Ekitongole kya Wells of Life Kya bwannakyewa okuva mu America, kyatta omukago n’obwakabaka okutuusa amazzi mu bantu ba Kabaka. Mu kiseera kino baatandise okusima nayikondo mu Ssaza lye Ssingo ne Buweekula , era e Mityana bagenda kuteekayo ettendekero erinaasomesa abagenda okulabirira nayikondo, okuziddaabiriza n’okuzisima.