Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akakasizza nga Obwakabaka bwebugenda okuzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi awamu n’ekyo ekisiika emmwaanyi mu ngeri y’okugatta omutindo ku kirime kino.
Ekyama kino Owek. Nsibirwa akibikulidde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo kulwa Katikkiro okuva mu e Bugerere, Butambala, Ssingo, Abaluŋŋamya b’emikolo, Bannakisinde ki DP block n’abayizi ba MUMSA High School ku Lwokuna.
“Obwakabaka bwafunye ettaka eryawereddwa ekitongole kya Mwanyi Terimba Limited e Nakisunga ewagenda okuzimbibwa ekyuuma ekisunsula emmwanyi n’ekisiika kaawa okwongera okugatta omutindo ku mmwanyi,” Oweek. Waggwa Nsibirwa bw’annyonnyodde.
Oweek. Waggwa ategezeeza nti Gavumenti ya Ssaabasajja ekubiriza abantu bonna okwongera okulima emmwaanyi era waliwo enteekateeka ez’okwongera amaanyi mu kitongole ky’Obwakabaka eky’obulimi ekya BUCADEF.
Omuwanika Nsibirwa akunze abantu ba Buganda okubeera abagezigezi baleme kuggyibwa ku mulamwa naye balemere ku kulima emmwaanyi era bafube okukuuma omutindo gwazo kubanga eno y’ enteekateeka ya Buganda kwesibidde era kizuuliddwa nti ly’ ekkubo erisobola okuggya abantu ba Nnyinimu mu bwavu.
Ono era abasabye ekirime kino okukitwala nga kyabwe okufaananako n’ebisolo byebalina era bafeeyo okunyweza omutindo gwazo ekiseera kyonna kubanga emmwaanyi terina gyelaga.
Owek. Waggwa alambuludde nti ebbeeyi ya Kase yaliko ku Silingi 3000, 5000 ne 15000 wabula mu byonna ekifuga obulamu ze ssente ezaabuliwo bwatyo naabewaza okuva ku mmwaanyi kuba bajja kumaliriza bafuuse abalomba.
Bino webijjidde nga Palamenti yakamala okuggyawo ekitongole ekibadde kivunaanyizibwa ku mmwaanyi ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nekizza wansi wa Minisitule y’Ebyobulimi wakati mukuwakanyizibwa bannansi n’ebitongole ebyenjawulo nga bitya nti omutindo gwazo guyinza okuddirira.