
Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ategeezezza nti Obwakabaka bugenda kuzimba essomero mu buli ssaza kiyambeko okutangaaza ebiseera by’abaana ba Buganda eby’omu maaso.
Obubaka buno obuwa essuubi, Owek. Nakate abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde asisinkanye bannakyaddondwa abaleese Oluwalo nategeeza nti essira bakusooka kuliteeka ku masomero g’omutendera ogusooka.
“Ssaabasajja yalagidde buli Ssaza lizimbibwemu essomero ly’abaana abato ery’Obwakabaka era twatandise okulambula embuga z’Amasaza ag’enjawulo okulaba nga geteekateeka bulungi okusobola okunnyikiza enteekateeka eno” Minisita Nakate bw’agambye.
Owek. Nakate agasseeko nti okunoonyereza kulaga nti omwana asinga okuyiga byonna by’ayiga mu Nsi ng’asobodde okutegeera ebyo ebimulagiddwa ng’akyali wakati w’omwaka ogumu n’etaano ng’eno y’ensonga lwaki Nnyinimu yasazeewo enteekateeka eno kweba etandikira.
Minisita asabye abantu okuwagira enteekateeka eno abaana b’Eggwanga bongere okubangulwa obulungi nebiseera byabwe eby’omu maaso bitangaale.
Owek. Nakate mu ngeri y’emu akubirizza abantu ab’amasomero okusomesa olulimi Oluganda, kyokka asoomoozezza abazadde abeesulirayo ogwannagamba mu kumanyisa abaana olulimi lwabwe nebatanula okuboogeza Olungereza ewaka.
Mu ngeri y’emu akubirizza abasomesa okwagazisa abaana okusoma ebya ssaayansi baleme kubonaabona nakunoonya mirimu nga bafulumye.
Owek. Kikomeko ategeezezza nti Obwakabaka era buli mukuzimba amalwaliro agajja okwetaaga abagakolamu, na bwekityo guno mukisa eri abo abanassoma eby’obusawo ate n’emikisa mu bifo ebirala n’Ebweru w’Eggwanga.
Ono yeebazizza Maasomoogi olw’enkulaakulana ez’enjawulo zaataddewo mu byenjigiriza era naatabukira abalemeddwa okutwala abaana babwe ku ssomero nga Nnyinimu abateereddewo buli kimu.