Ekigendererwa Kya kutumbula bya bulamu mu Bantu ba Uganda.
Mu lukungaana olw’enteeseganya olutudde ku Bulange wakati w’obwakabaka n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu mu Gavumenti ya wakati nga bakulembeddwamu Dr. Diana Atwine, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti abantu beetaaga okufuna obubaka obukwata ku nsonga zebyobulamu, ate era twagala abantu babeere balamu, kitwetaagaisa okukolagana ne minisitule y’ebyobulamu abantu baffe babeere balamu basobole okukola okuzza Buganda ku ntikko.
Obuyonjo mu maka nga mulimu kaabuyonjo, okunaaba mu ngalo, okunywa amazzi amafumbe, okuyonja emibiri gyabwe, okuyonja amaka mwetusula era n’ebyetoloddewo byebimu kubirina okukolebwa okwewala eddwande eziva ku bujama. Kaweefube w’okugema abaana atandika mwezi gujja mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo. Katikkiro ategeezezza nti bagenda kukola endagaano erimu endwadde ezigenda okukwatibwako ng’omu ku kaweefube w’okukyuusa embeera y’ebyobulamu mu Bantu.
Era abakugu okuva mu minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti ya wakati bategezeza nti ekirwadde ekitandiise okwerisa enkuuli ensangi zino ekimanyiddwa nga “rubella” kino kirinnyo mu abaana abato abazaalibwa, abaana bazaalibwa nga tebawulira ate abalala nga tebalaba.