
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bwagala Kamisona w’ebyattaka mu ggwanga asazeemu ebyapa ebyaweebwa omugagga Hamis Kiggundu (Ham) ne Kaggwa Nakibinge nga bayita mu kkampuni yaabwe eya Kiham Enterprises Uganda Ltd ku ttaka lya Kabaka erisangibwa e Kigo mu Busiro.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Obwakabaka kiraga nti Ham yasala ebyapa 4 ku ttaka lya Kabaka nga Novemba 21, 2019 nga bino byasukka ne ku ttaka lya Kabaka eriri ku Bulooko nnamba 273 ku Poloti nnamba 87, 99, 161, 165, 167 ne 167 ne Bulooko nnamba 273 ku poloti 38.
Buganda egamba nti eby’okukola ebyapa bya Freehold ku ttaka ne bitwaliramu n’ettaka lya mayiro ke kamu ku bukodyo obupya ababbi b’ettaka bwe bakozesa okutaataganya ebiwandiiko nga batondawo ebipya.
Okusinziira ku Bwakabaka ebyapa Ham bye yafuna biva ku ttaka lya Kabaka ne bituuka ku nnyanja Victoria kigotaanya obutonde bw’ensi nga gavumenti n’ekitongole kya NEMA beetaaga okusitukiramu okusazaamu ebyapa ku ttaka lino.
Obwakabaka bunnyonnyola nti ebikolwa bya Ham eby’okuyiwa ettaka mu kitundu kino eky’omufulejje nga yeeyambisa olukusa okuva mu bamu ku bakungu b’ekitongole kya UNRA kikontana n’ekiragiro kya kkooti ekyafulumizibwa nga 31, January, 2018 ku kitundu kino watadde ekkubo.
Buganda egamba nti ekigendererwa kya Ham okukola ekkubo lino kyali kyakulaba nti atuuka ku ttaka lya Kabaka eddala eriri mu kitundu kino asobole okulyeza.
Obwakabaka busiimye ekitongole kya UNRA olw’okukozesa obwangu n’ekiggya olukusa ku mugagga ono ku kkubo lino kuba ebigendererwa bye biriko akabuuza. Buganda egamba nti omufulejje guno mukulu nnyo eri aba Mirembe Villas awamu ne Serena Kigo kuba gwe gugatta ekitoogo ku nnyanja Victoria era gwe guyamba okuziyiza amataba n’okukuuma obutonde mu kitundu kino.
Ham ne munne bakwatagana n’ekitongole kya NEMA ne bafuna olukusa okuzimbayo ennyumba awamu n’ ekifo ekisanyukirwamu. Buganda yategeezezza eby’okuyiwa ettaka mu mufulejjo guno kikontana n’okukkaanya okwaliwo mu kkooti wakati wa Pearl Investiments (Serena Kigo) n’ekitongole kya UNRA kuba bano bombi bakkaanya okukuuma omufulejjo guno.
Kati Buganda eyagala Kamisona avunaanyizibwa ku by’okuwandiisa ettaka akozese obuyinza bwe okutereeza ensobi eno kuba byonna ebyakolebwa byali bikyamu.









