Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu n’embeera z’abantu mu Bwakabaka, Owek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nti Obwakabaka bugenda kuteeka essira okukunga abakyala okulwanyisa obutabanguko obukolebwa ku basajja nga beeyambisa Tekinologiya.
Kino kibikuddwa Owek. Nankindu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokubiri ku nteekateeka z’okujaguza olunaku lw’ Abakyala olw’omwaka guno.
“Obubaka bwaffe ng’Obwakabaka ku mulundi guno amaanyi tugatadde ku kutulugunya abaami kuba tulaba nti abakyala balina omulimu munene gwebasobola okukola okutangira okutulugunya abaami n’abaana mu maka,” Owek. Nankindu bw’agasseeko.
Owek. Nankindu asabye abakyala buli kimu okukikola mu bukkakamu kiyambe okukendeeza embeera y’okusika omuguwa ekivaako obutabanguko kitaase abaana mu maka, ku muliraano oba mu bika byabwe.
Ono ayagala abazadde n’abantu bonna bakozesa omutimbagano n’essimu okusomesa n’okubuulirira abaana ku kawuka ka Mukenenya nga bagatta ku mulimu Beene gw’akoze okukakkakanya.
Minisita Nankindu agamba nti omulamwa gw’omwaka guno ogwa Tekinologiya kisobokera ddala okwanguya empuliziganya eri abaana abawala n’abalenzi nekiyamba okusala ku misinde mukenenya kwasaasaanira.
Owek. Nankindu agamba nti beetaaga ensi okumanya enkozesa ya Tekinologiya ennungi, entuufu era egwanidde okulwanyisa endwadde n’obutabanguko obwenjawulo.
Ssentebe wa bboodi y’Ekikula ky’abantu mu Minisitule y’ebyobulamu, Omuk. Nakazzi, agamba nti abantu bonna batulugunyizibwa nga ekizibu kino okusinga kiri mu baana.
Omuk. Nakazzi annyonnyodde nti ku mulundi guno bakowoola abakyala okuwa obweyamo kubanga okunoonyereza kuzudde nti ebitundu 44 ku buli 100 be baami abatulugunyizibwa mu maka.
Ono agasseeko nti bakukozesa Tekinologiya omuli , okukwata obutambi, amaloboozi n’okuwanika ebifaananyi n’obubaka ku mikutu egy’enjawulo okulwanyisa ekizibu kino.