Abantu bajjumbidde okugaba omusaayi ku Bulange
Okugaba omusaayi kuno kwategekeddwa Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kyabwo ekya Kabaka Foundation nga bakolera wamu ne Minisitule y’ebyobulamu mu bwa Kabaka bwa Buganda era nga kwakumala enaku bbiri.
Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiiya, Prof Twaha Kigongo Kaawaase, wamu n’omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa, bakulembeddemu abantu ba Ssaabasajja Kabaka okugaba omusaayi mu nteekateeka egenda mu maaso ku Bulange eyennaku ebbiri.
Owek Kaawaase asabye abantu ba Kabaka awamu ne banna Ugnanda bonna okujjumbira enteekateeka eno kubanga endwadde nnyingi eziruma abantu nga neezimu kwezo zetaaga omusaayi oguwerako.
Omulangira Cryspin Jjunju ategeezezza nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu okufaayo okulwanirira obulamu bwabo abali mu bwetaavu naddala abalwadde.
Okusinziira ku ba National Blood Bank, eggwanga lyetaaga unit z’omusaayi ezisukka mu mitwalo asatu mwetaano (350,000), n’olwekyo obwetaavu bw’omusaayi bwamaanyi okusobola okutaasa obulamu bw’abantu.