
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Olukiiko lwa Buganda luyisizza Embalirira y’Obwakabaka ey’omwaka 2024/2025 ng’eno eyanjuddwa Omuwanika wa Buganda Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa ya buwumbi 257 n’ensimbi ezigwamu ku Bbalaza mu lukiiko olubadde lukubirizibwa Sipiika Patrick Luwaga Mugumbule.
Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde ayanjula embalirira eno ategeezezza nti eno ya nsimbi obuwumbi 257,271,233 nga esukulumye ku y’omwaka 2023/2024 n’obuwumbi 46 bulambirira.
Owek Nsibirwa alambisse ebituukidwako mu mwaka gwebyensimbi 2023-2024 nga bino bisukulumyeko katono kwebyo byebateekateeka kyokka nga bigirayo ddala omulamwa ogw’ensonga ssemasonga ettaano ez’okuzza Buganda ku ntikko.
“Embalirira y’omwaka 2024-2025 yakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Ensi eyeegombebwa, omutindo ogw’ebikolwa ebinazza Buganda ku ntikko,” Omuwanika Waggwa bw’annyonnyodde.
Ono agasseeko nti eby’obulamu biteekeddwa ku mwanjo mu mbalirirra y’omwaka guno songa n’ebyenjigiriza nga bino bye bimu kubisinze okuteekebwamu ensimbi mu mbalirira eno.
kunsonga z’ebyobulamu, Obwakabaka bwakussa essira okukendeeza akawuka akasasanya mukenenya, okugula ebyuma mu malwaliro agazimbiddwa mu masaza 3, okuli Ssingo, Buddu ne Kyagwe, okwongera okubunyisa amazzi amayonjo n’ensonga endala.
Okusinziira ku Muwanika Nsibirwa, olutalo lw’okulwanyisa obwavu mu bantu ba Kabaka bakulwongeramu amaanyi nga bayita mukusomesa abantu okukuuma omutindo gw’emmwaanyi basobole okuziganyulwamu.
Obwakabaka bwakusomesa abantu ku bulungi bw’ebibiina by’obwegassi, okutereka ensimbi n’okuwagira abalimi basobole okufuna obukugu obusaanidde beekulaakulanye awamu n’engeri gyebasobola okukozesa enkola y’okufukirira nebasobola okuyita mu kyeeya nga byebalima tebikoseddwa.
Wabula Owek. Waggwa Nsibirwa alaze okutya olw’akatuubagiro k’ebyenfuna akolekedde ensi yonna nga kivudde mu miwendo gy’amafuta ogweyongedde mu nsi yonna nga kivudde ne ku ntalo ez’omunda mu mawanga agasima amafuta

Bino byebimu ku bisinze okuvaamu ensimbi mu mwaka gwebyensimbi oguggwako 2023/24.
1. Bannamikago – 55bn
2. Ebibiina by’Obwegassi – 41bn
3. Envujjo, Busuulu ne Kanzu ku Ttaka – 35.8bn
4. Ebisale okuva mu bayizi – 19bn
5. Eby’empuliziganya n’Amawulire – 14bn
6. Ensimbi ezibanjibwa Gavumenti eya wakati – 13.8bn
7. Emmwanyi Terimba – 5bn
8. Eby’emizannyo – 1.5bn
Omwaka gw’ebyensimbi ogugenda okutandika 2024/2025 gugenda kutambulira ku mulamwa gwa ensi ezeegombebwa: olutindo lw’ebikolwa ebinazza buganda ku ntikko.
Obwakabaka essira ligenda kubuteeka ku Okukendeeza Ku Muwendo Gw’abantu abaavu lunkupe Mu Buganda – kino okutuukibwako, essira ligenda kuba ku bibiina byabwegassi.
– Okusitula Omutindo gw’ebyenjigiriza
– Okutwala Mumaaso Federo ey’Ebikolwa
– Obuwangwa n’Ennono
– Ebyobusuubuzi, Ebyenfuna n’Okusiga Ensimbi
Nebirala.
Ensimbi ezigenda okukola emirimu gino zigenda kuva mu bintu ebyenjawulo naddala.
Ø Bannamikago – 66.9bn
Ø Ebibiina by’Obwegassi – 44.4bn
Ø Envujjo, Busuulu ne Kanzu ku Ttaka – 36.5bn
Ø Ebisale okuva mu bayizi – 22.8bn
Ø Emmwanyi Terimba – 20bn
Ø Eby’empuliziganya n’Amawulire – 17.3bn
Ø Ensimbi ezibanjibwa Gavumenti eya wakati – 12.8bn
Ø Eby’emizannyo – 1.5bn









