
Bya Samuel Stuart Jjingo
Matugga – Kyaddondo
Obwakabaka buyimirizza mbagirawo emirimu gyonna eribadde gikolebwa ku lusozi Matugga Kitto olusangibwa mu ggombolola Ssaabawaali Matugga okuli ebyafaayo ebikwata ku Bwakabaka ebiseera ddala.
Obubaka buno busomeddwa Jjaaja w’Olulyo Olulangira, Omulangira Ssaalongo Luwangula Basajjansolo era alaze obwenyamivu olw’abatuuze abesuliddeyo ogwanagamba okwesenza, okwonoona nga baasa amayinja agasangibwa ku lusozi luno.

Omulangira Luwangula awaddeyo ebbaluwa eno eri abakulembeze b’okukitundu era naabasaba obutanyomoola kiragiro kino.
Akuutidde abakulembeze
n’ abantu bonna obutakolagana na muntu yenna ku ttaka ly’Obwakabaka oba okuli ebifo eby’ennono n’obuwangwa n’ebyafaayo ebimanyiddwa, kubanga bajja kufiirwa ate era nokuvunaniibwa abobuyinza mu mbuga z’ amateekam
Kabaka yasiima ettaka lye okuddukanyizibwa ekitongoole ki Buganda Land Board era yokka y’evunaanyizibwa, okuwa omuntu yenna olukusa okulikorelako, obupangisa oba okubeerako.
Bino webijidde nga Obwakabaka buli Mu kaweefube w’okutaasa, okununula, okukuuma n’okukulakulaanya ebifo by’obuwangwa n’ennono.
Wansi w’ enteekateeka eno, Minisitule y’ Obuwangwa mu bwakabaka ezze erambula ebifo by’ ennono eby’enjawulo okwongera okwekaanya ebikolebwako n’ okulaba embeera mwebiri.
