Bya Nassolo Maria
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda buweze okukola kyonna ekyetaagisa okulwanyisa ekirwadde kya Kafuba mu Buganda ne Uganda ekyeyongera buli lukya.
Obweyamo buno buweereddwa minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire ne Kkabineeti, Owek. Noah Kiyimba bw’abadde mu musomo gw’ebyobulamu okwategekeddwa okubangula Abaami ba Kabaka ab’Amasaza n’Eggombolola ku kirwadde kino.
“Mbeebaza okujjumbira omusomo guno era mbasaba okufaayo kubibasomesebwa abasawo musobole okusomesa abantu ba Ssaabasajja abali mu byalo byammwe ate bakomye n’omuze gw’okwejjanjaba “. bwatyo Owek. Noah Kiyimba bw’ategeezezza
Mungeri yeemu, minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Buganda, Owek. Dr. Properous Nankindu Kavuma ategeezezza nti obulwadde buno businga kwegirisiza mu ssaza lya Ssaabasajja ery’e Buddu n’ategeeza nti kino ky’ekiseera okuluma n’ogwengulu okulwanyisa obulwadde bw’akafuba n’ebigenge.
Omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda okukwasizaako gavumenti okulwanyisa endwadde okuli siriimu, Nnalubiri n’endala n’okugaba omusaayi okusobola okuganyula abagwetaaga.
Omusomo guno gugaddwaawo minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu bwakabaka bwa Buganda, Owek. Christopher Bwanika ng’ono yaakyikiridde katikkiro wa Buganda ategeezezza nti mukakafu nti ebibanguddwa Abaami baakubiteeka munkola era naabateegeza nti buvunanyizibwa bw’ abakulembeze okumanyisa abantu baabwe ku kyebalina okukola.
Abamu ku Baami ba Kabaka abeetabye mu musomo guno baweze okussa munkola ebibasomeseddwa nebategeeza nti bakubangula abantu ba Ssaabasajja bebakulembera okukendeeza ku kirwadde kino.
Ebibalo ebiva mu minisitule y’ebyobulamu, biraga nti abantu 30 beebafa buli lunaku obulwadde bw’akafuba ate abantu 91000 beebafa buli mwaka ng’abaami beebasinga okufa bw’ogeraagerannya ku bakyala.
Abakugu kino bakitadde ku nneeyisa y’abaami omuli okukozesa ebiragalalagala ng’abamu baba balina n’obulwadde bwa mukenenya.
Omusomo guno gutegekeddwa Minisitule y’Ebyobulamu n’ekitongole ki USAID n’ Obwakabaka okubangula abaami b’amasaza, eggombolola n’emiruka ku birwadde bino.