
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bwakuwaayo Ttulakita ttaano (5) nnamba okutumbula eby’obulimi mu masaza ag’enjawulo kiyambeko okuggya abantu ba Kabaka mu bwavu.
Okusinziira ku Ssenkulu w’ekitongole kya BUCADEF nga kino kyekivunaanyizibwa ku by’obulimi mu Buganda, Omukungu Alfred Bakyusa Ttulakita zino zigenda kugabwa eri amasaza era abalimi bajja kuba bazipangisa bazeeyambise okulima naddala abo abalina ettaka eddene kibayambe okukolera mu budde era bagatte omutindo kwebyo byebalima.
Omuk. Bakyusa agamba nti guno gwegumu ku mikolo egirondeddwa okukulembera omukolo omukulu ogw’okujjukira Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70 nga guno gwakubaawo nga 11/04/2024.
Omuk. Bakyusa anyonyodde nti okugaba Ttulakita mu masaza gonna yali nteekateeka nnene mu nnamutayika w’Obwakabaka okulaba nti eby’obulimi bitumbulwa mu Buganda nga abantu balima mu nnima ey’omulembe wamu neku ttaka eggazi nga ekigendererwa kya nkulakulana mu bantu ba Buganda babeere bulungi okuyita mu bulimi.
Ono ategeezezza nti Kkalakita zakuziba eddibu ly’abantu okulima emmere y’okulya awaka yokka wabula n’okugaziya mu byenfuna. Amaka agalina ettaka eddene nga galimisa nkumbi yooka ekibavirako okulima ebirime ebitono naye bwebabongeramu amaanyi ga tekinologiya ono bakwongera ku muwendo gwe birime.
Omuk. Bakyusa annyonnyodde nti BUCADEF yasaawo akakiiko ku buli Ssaza akanalung’amya nga enkola za Ttulakita ezo wamu nabanaazivuga era bakutalaaga amasaza nga basomesa abalimi enkozesa ya Ttulakita zino ku nnima eyomulembe nga mu kusiga, mukufukirira, mukukoola wamu namakungula.
Ono agamba nti buli mulimu alina omukisa okukozesa kkalakita ya Beene eno nga ayita mu mitendera egy’okusaba akakiiko akasidwawo okulungamya enteekateeka eno era kano kajja kusookanga kulambula ttaka lirina okulimirwa era kagereke ensimbi ezirina okusasulwa.

Omuk. Bakyusa asabye abantu bonna baleke kwesiba ku mirimu mirala wabula esuubi baliteke mu kulima era alaze okwenyamira nti bafuna obuzibu bwa masomero agaawanga abaana ebibonerezo by’okulima nebaletera abayizi okwenyiwa obulimi ate nga mwemuli essuubi erisobola okukyusa obulamu bwabwe.
Ono akuutidde abagenda okuganyulwa mu Ttulakita zino okukola kyonna bazikuume kuba Omutanda yaziwaddeyo kugasa bantu be era beewale ebiyinza okuzonoona n’okuzibbamu ebyuma.
Amasaza agagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno kuliko; Buwekula, Mawokota, Bugerere, Kooki, ne Mawogola.