Musasi waffe
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo obukadde bwa siringi 70 okudduukirira omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Ssekabaka Edward Muteesa mweyasulanga bweyali akyali omuyizi.
Obukadde buno 70, bwakungaanyizibwa ku kijjulo ekyategebwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu nteekateeka y’okuzimba ekkaddiyirizo lya Muteesa e Makerere.
Bwabadde ayogerera ku ssettendekero e Makerere, Katikkiro Mayiga yagambye nti amatendekero gonna amakulu gabaako b’ebyafaayo ebyamaanyi era nga gabikuuma butiribiri.
“Bwotambula ensi yonna n’ogimalako osanga ssettendekero ntono nnyo ezirina ba pulezidenti abaagisomeramu. E Makerere tuli baamukisa Pulezidenti wa Uganda eyasooka Muteesa yasomera wano, Pulezidenti wa Tanzania Julius Nyerere, Pulezidenti Obote yasomerako wano newankubadde akaseera katono,” Mayiga bweygaambye.
Yagasseeko nti amatendekero gano amakulu ekigendererwa kyago kyakusomesa ebyamagezi naye tekisoboka kwogera ku byanjigiriza byokka neweerabira ennono zaago eyeesigamye nnyo ku byafaayo n’abantu abaagasomeramu.
“Bwetuba twagala okuba n’ebiseera by’omumaaso ebirungi tetusaana kwerabira byafaayo kubanga byebitutuusa wano wetuli netutegeera bulungi embeera mwetubeera,” Mayiga bwyegambye.
Yeebazizza nnyo omumyuka wa ssenkulu w’e Makerere prof. Barnabas Nawangwe olwekirowoozo ky’okuzimba ekkaddiyirizo lya Muteesa wamu n’okukuuma ekifananyi kye nnyumba ya Muteesa nga bweyali ku mulembe gwe.
Katikkiro era yasabye gavumenti okufaayo ennyo eri ssettendekero w’e Makerere kubanga wankizo nnyo mu ggwanga nga nnakazadde wa zissettendekero zonna.
“Gavumenti tugisaba Makerere egyongere ensimbi okujaawula ku zissettendekero endala. Twetaaga essente okuddabiriza ebisulo b’abayizi era gavumenti teyinza kubulwa ssente okuvujjirira Makerere eyongere okunoonyereza,” Mayiga bweyagambye.
Kululwe, prof. Nawangwe yagambye nti yawuliranga bubi buli lweyagendanga mu makaddiyirizo e Bulaaya nga naagamu tegalina bingi byegalina naye nga mu ggwanga lye temuli kaddiyirizo lyonna eriraga ebyafaayo bya bazira.
“Muteesa yali muzira era nga yeyali pulezidenti wa Uganda eyasooka. Tubeera tutya n’ekizimbe kino Ssekabaka eyakola omulimu omunene okulwanyisa abafuzi bamatwale naye nga kiri mbeera embi. N’engamba okwogera tekugasa katubeeko kyetukola era kino kyekimu ku bijjukizo byaffe nga tuweza emyaka 100 nga ssettendekero ono,” Nawangwe bweyagambye.