
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda butongozza Yinsuwa y’ebyobulamu etuumiddwa “Munno mukabi” ng’omu ku kaweefube w’okutumbula eby’obulamu mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Enteekateeka eno etongozeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ne Tekinologiya mu Bwakabaka, Owek. Twaha Kawaase Kigongo ku Lwokusatu.
Bwabadde atongoza enkola eno, Owek. Kaawaase asabye abantu okugyettanira obulamu bubanguyire kuba esobola okubayamba mu kaseera akazibu nebasobola okufuna obujjanjabi.
Owek. Kawaase ajjukiza abantu nti ensangi zino eby’obulamu bikalubye kale nga kiba kyetaagisa omuntu okubaako newaddukira mu biseera ebizibu naddala mu biseera by’obulwadde kubanga bujja nga tebusuubiddwa.
Ono agamba nti emirundi mingi abantu balwala nebesanga nga tebalina wadde eddagala era nga wano Beene weyasinzidde nasiima abantu be babateerawo engeri ennyangu mwebasobola okuyita nebafuna obujjanjabi.
Ono akoowodde aba boodabooda n’abavuzi b’ebidduka okubeera abasaale mu kwewandiisa mu yinsuwa eno babeere ku mirimu nga bagumu nti webafunira akabenje konna eky’obujjanjabi kyanguwa.

Okusinziira ku Owek. Kawaase, okunoonyereza kulaga nti buli ddakiika wabeerawo akabenje ka booda booda ate nga abasinga babufuna nga tebalina wadde webatandikira mu kwejjanjaba.
Ono abakubidde omulaga nti ssente baziteeke ku bulamu bwabwe okusinga lwebanaazimalira mu bintu ebizitwala nga zzaala ate nebejjusa.
Mu Yinsuwa eno, omuntu wakusasulanga ensimbi za Uganda emitwalo 36,000 zokka buli mwaka okufuna obujjanajabi bweyetaaga.
Mu ngeri yeemu, wabaddewo okutongoza ne Yinsuwa eyakwatizaako abafiiriddwa nebayita mu kaseera akazibu nga tefunye kukaluubirizibwa era asabye abantu nayo bagyettanire.
Ate Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa atenderezza enkola za Yinsuwa ezitongozeddwa era n’asaba abantu bonna okuzeyuna kubanga teziboola muntu yenna.
Yinsuwa zino zikoleddwa ng’Obwakabaka bukolagana ne kampuni ya Yinsuwa eya Liberty Life Insurance Company eyatta omukago ne Kampuni y’Obwakabaka eya Werinde Insurance Brokers.
Owek. Kawaase asuubizza aba Liberty Life Insurance Company nti Obwakabaka bujja kutambula nabo mu nkolagana eno kubanga eggyayo ekigendererwa kya Beene eky’okusitula mbeera z’abantu be.