Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Obwakabaka nga buli wamu ne kitongole ki Habitat for Humanity batongozza enkola y’okuzimbira abantu abali mu bwetaavu amayumba mu Buganda okutumbula embeera zabwe.
Enteekateeka eno etongozeddwa leero ku Lwokutaano mu ssaza Kyaggwe ng’ enkola eno egendereddwamu okuyamba abo abatawanyizibwa ebyensula.
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde wano nasaba abamasaza wonna mu Buganda okutandika okunoonya abantu abeetaaga okuganyulwa mu nteekateeka eno kubanga wadde etandikidde Kyaggwe naye egenda kubuna Obuganda bwonna.
Owek .Nsibirwa agamba buli ssaza lyakutuulanga buli mwaka okusalawo ku ngeri gyeringenda okutambuzaamu enkola eno mu bwerufu.
Ono ategeezezza nti olw’ebibala ebyava mu nteekateeka eno eyasooka kati eno esuumusiddwa okuva mu ppuloojeki, n’efuulwa pulogulaamu ya myaka 5.
Waggwa ategeezezza nti enkola eno eyokuzimbira abantu amayumba ‘Akaalo Amatendo’ ngakabonero akokutumbula obuntu bulamu mu Buganda
Minisita w’Ettaka, Obulimi, Obutondebwensi, ne Bulungibwansi, Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja, agambye nti ennyumba 14, mu masaza nga buyita mu nteekateeka eno.
Owek. Mayanja Nkalubo ategeezezza nti buli mwaka bafuna abantu bangi abaagala okubazimmbira amayumba kyokka ng’ ebiseera ebisinga babeera baavu lunkupe.
Omukungu wa Habitat for Humanity Uganda, Henry Kitaka, annyonnyodde nti bakufuba okulaba nga enkola eno etambula bulungi era esobole okugasa abantu ba Buganda.
Enteekteeka etandikidde Kyaggwe n’ennyumba 5, ng’abantu ab’enjawulo beeyamye ensimbi n’obuweereza okuvujjirira enteekateeka eno.